Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 78

Beera Mwetegefu, Omuwanika Omwesigwa

Beera Mwetegefu, Omuwanika Omwesigwa

LUKKA 12:35-59

  • OMUWANIKA OMWESIGWA ALINA OKUBA OMWETEGEFU

  • YESU AJJA OKULEETA ENJAWUKANA

Yesu yaakamala okukiraga nti ‘ab’ekisibo ekitono’ be bokka abajja okufugira awamu naye mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Lukka 12:32) Ekirabo ekyo kya muwendo nnyo. Mu butuufu, Yesu akiraga nti kikulu nnyo omuntu agenda okufugira awamu naye mu Bwakabaka okuba n’endowooza ennuŋŋamu.

Bwe kityo, Yesu akubiriza abayigirizwa be okwetegekera okudda kwe. Agamba nti: “Mubeere nga mwambadde era nga mweteeseteese era n’ettaala zammwe muzikuume nga zaaka, era mubeere ng’abasajja abalindirira mukama waabwe okudda okuva ku mbaga ey’obugole ne kiba nti bw’atuuka n’akonkona, amangu ago bamuggulirawo. Balina essanyu abaddu abo mukama waabwe b’asanga nga batunula!”​—Lukka 12:35-37.

Abayigirizwa bategeera bulungi ensonga Yesu gy’ayogerako. Abaweereza b’ayogerako beetegefu, era balindirira okudda kwa mukama waabwe. Yesu agamba nti: “[Singa mukama waabwe] atuuka mu kisisimuka eky’okubiri [okuva ku ssaawa ssatu ez’ekiro okutuuka ku ssaawa mukaaga ez’ekiro], wadde eky’okusatu [okuva ku ssaawa mukaaga ez’ekiro okutuuka ku ssaawa mwenda ez’ekiro], n’abasanga nga batunula, balina essanyu abaddu abo!”​—Lukka 12:38.

Mu kugera olugero olwo, Yesu alina ensonga enkulu gy’ayagala abagoberezi be bategeere. Ekyo kyeyolekera mu ngeri Yesu, Omwana w’omuntu, gye yeeyogerako mu lugero olwo. Agamba abayigirizwa be nti: “Nammwe mubeere beetegefu, kubanga ekiseera kye mutamusuubiriramu, Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.” (Lukka 12:40) Ekyo kiraga nti mu kiseera eky’omu maaso, Yesu ajja kujja. Ayagala abagoberezi be, naddala ‘ab’ekisibo ekitono,’ babeere beetegefu.

Peetero ayagala ategeere bulungi ebigambo bya Yesu ebyo, bw’atyo amubuuza nti: “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe oba olugeredde bonna?” Mu kifo ky’okuddamu Peetero butereevu, Yesu agera olugero olulala olulina akakwate n’olugero lwe yaakamala okugera. Agamba nti: “Ddala omuwanika omwesigwa era ow’amagezi y’ani mukama we gw’alisigira abaweereza be okubawanga emmere ebamala mu kiseera ekituufu? Aba n’essanyu omuddu oyo singa mukama we ajja n’amusanga ng’akola bw’atyo! Mazima mbagamba nti, alimusigira ebintu bye byonna.”​—Lukka 12:41-44.

Mu lugero olusooka, “mukama” w’abaddu ye Yesu, Omwana w’omuntu. N’olwekyo, “omuwanika omwesigwa” yandibadde akolebwa abamu ku basajja abali mu ‘kisibo ekitono’ abajja okuweebwa Obwakabaka. (Lukka 12:32) Wano Yesu akiraga nti abamu ku abo ab’ekisibo ekitono bajja kuba nga bawa ‘abaweereza be emmere ebamala mu kiseera ekituufu.’ Bwe kityo, Peetero n’abayigirizwa abalala Yesu b’aliisa mu by’omwoyo bakiraba nti mu kiseera eky’omu maaso Omwana w’omuntu ajja kujja. Mu kiseera ekyo, wajja kubaawo enteekateeka ey’okuliisa mu by’omwoyo abagoberezi ba Yesu, kwe kugamba, “abaweereza” ba Mukama waabwe.

Yesu ayongera okulaga ensonga lwaki abayigirizwa be beetaaga okuba obulindaala n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Ekyo kiri kityo kubanga kisoboka omuntu okulekera awo okuba obulindaala n’atuuka n’okuziyiza bakkiriza banne. Yesu agamba nti: “Naye singa omuddu oyo agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange aluddewo okujja,’ n’atandika okukuba abaddu n’abazaana, era n’okulya, n’okunywa, n’okutamiira, mukama w’omuddu oyo alijjira ku lunaku lw’atamusuubiriramu ne mu ssaawa gy’atamanyi, era alimubonereza nnyo era n’amuteeka wamu n’abo abatali beesigwa.”​—Lukka 12:45, 46.

Yesu agamba nti yajja ‘okukoleeza omuliro ku nsi.’ Era mu butuufu agukoleezezza, ng’ayigiriza ebintu ebireetera abantu obutakwatagana era ebyokya enjigiriza ez’obulimba n’obulombolombo bw’abantu. Ebyo by’ayigiriza bisobola n’okwawula abantu be wandisuubidde okuba obumu. Byawula “taata ne mutabani we, mutabani ne taata we, maama ne muwala we, omuwala ne maama we, nnyazaala ne muka mwana, muka mwana ne nnyazaala we.”​—Lukka 12:49, 53.

Ebigambo ebyo okusingira ddala Yesu abigamba bayigirizwa be. Oluvannyuma akyukira ekibiina ky’abantu. Wadde nga waliwo obukakafu bungi obulaga nti ye Masiya, abasinga obungi ku bo bagaanye okumukkiriza. Bwe kityo abagamba nti: “Bwe mulaba ebire nga biva ebugwanjuba, amangu ago mugamba nti, ‘Enkuba ey’amaanyi ejja,’ era bwe kityo bwe kiba. Era bwe mulaba embuyaga eva mu bukiikaddyo ng’ekunta, mugamba nti, ‘Ebbugumu lijja kuba lingi,’ era bwe kityo bwe kiba. Bannanfuusi mmwe, mumanyi okwekenneenya endabika y’ensi n’ey’eggulu, naye lwaki temumanyi kwekenneenya biseera bino?” (Lukka 12:54-56) Kyeyoleka lwatu nti abantu abo si beetegefu.