EKITUNDU 5
Yesu ng’Azzeeyo Ebuvanjuba wa Yoludaani
‘Bangi bamukkiririzaamu.’—Yokaana 10:42
MU KITUNDU KINO
ESSUULA 82
Obuweereza bwa Yesu mu Pereya
Yesu ategeeza abamuwuliriza ekyo abantu kye balina okukola okusobola okulokolebwa era n’ensonga lwaki bangi tebajja kulokolebwa. Ebyo bye yayogera bikulu nnyo ne leero?
ESSUULA 83
Bayitibwa ku Kijjulo—Baani Katonda b’Ayita?
Bw’aba ali ku kijjulo ew’Omufalisaayo, Yesu agera olugero olukwata ku kijjulo ekinene. Alina ensonga enkulu gy’ayagala abantu ba Katonda bonna bayige. Nsonga ki eyo?
ESSUULA 84
Okuba Omuyigirizwa—Kikulu Kwenkana Wa?
Okuba omuyigirizwa wa Kristo buvunaanyizibwa bwa maanyi. Yesu alaga ebizingirwamu. Ebyo Yesu by’ayogera byewuunyisa abamu abandifuuse abayigirizwa be.
ESSUULA 85
Wabaawo Essanyu Lingi ng’Omwonoonyi Yeenenyezza
Abafalisaayo n’abawandiisi banenya Yesu olw’okukolagana n’abantu aba bulijjo. Yesu abaanukula ng’agera engero eziraga engeri Katonda gy’atwalamu aboonoonyi.
ESSUULA 86
Omwana Eyali Azaaye Akomawo Eka
Biki bye tuyigira ku lugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya?
ESSUULA 87
Weteekereteekere Ebiseera eby’Omu Maaso—Kozesa Amagezi
Yesu akozesa olugero lw’omuwanika omubi okuyigiriza amazima.
ESSUULA 88
Embeera y’Omusajja Omugagga n’Eya Laazaalo Zikyuka
Okusobola okutegeera olugero lwa Yesu kikulu okumanya abo aboogerwako mu lugero olwo kye bakiikirira.
ESSUULA 89
Ayigiriza mu Pereya ng’Agenda e Buyudaaya
Ayogera ku kintu ekisobola okutuyamba okusonyiwa abantu nga mw’otwalidde n’abo abatusobezza emirundi mingi.
ESSUULA 90
‘Okuzuukira n’Obulamu’
Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti buli amukkiririzaamu “talifa”?
ESSUULA 91
Laazaalo Azuukizibwa
Obujulizi bwa mirundi ebiri buleetera abo abawakanya Yesu okukkiriza ekyamagero ky’akoze.
ESSUULA 92
Abagenge Kkumi Bawonyenzebwa—Omu Ye Yeebaza
Omusajja awonyezeddwa ebigenge takoma ku kwebaza Yesu naye yeebaza n’omulala.
ESSUULA 93
Omwana w’Omuntu Alirabisibwa
Okubeerawo kwa Kristo kulifaanana kutya ekimyanso eky’oku ggulu?
ESSUULA 94
Ebintu Bibiri Ebikulu—Okusaba n’Obwetoowaze
Mu lugero lw’omulamuzi omubi ne nnamwandu, waliwo ekintu ekikulu ennyo Yesu ky’ayogerako.
ESSUULA 95
Ebikwata ku Kugoba Abakazi ne ku Kwagala Abaana
Endowooza Yesu gy’alina ku baana eyawukana ku y’abayigirizwa be. Lwaki?
ESSUULA 96
Yesu Addamu Omufuzi Omugagga
Lwaki Yesu agamba nti kyangu eŋŋamira okuyita mu katuli k’empiso okusinga omugagga okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda?
ESSUULA 97
Olugero Olukwata ku Bakozi mu Nnimiro y’Emizabbibu
Ab’oluvannyuma bafuuka batya ab’olubereberye ate ab’olubereberye bafuuka batya ab’oluvannyuma?
ESSUULA 98
Abatume Baddamu Okwenoonyeza Obukulu
Yakobo ne Yokaana basaba ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka, naye si be bokka ababyagala.
ESSUULA 99
Yesu Awonya Abazibe b’Amaaso era Ayamba Zaakayo
Ebyawandiikibwa ebyogera ku Yesu ng’awonya omuzibe w’amaaso okumpi ne Yeriko ddala bikontana?
ESSUULA 100
Olugero Olukwata ku Mina Ekkumi
Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Buli alina alyongerwako; naye oyo atalina, ne ky’alina kirimuggibwako”?