Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 88

Embeera y’Omusajja Omugagga n’Eya Laazaalo Zikyuka

Embeera y’Omusajja Omugagga n’Eya Laazaalo Zikyuka

LUKKA 16:14-31

  • OLUGERO LW’OMUSAJJA OMUGAGGA NE LAAZAALO

Yesu abadde abuulirira abayigirizwa be engeri eby’obugagga gye bisaanidde okukozesebwamu. Naye abayigirizwa be si be bokka ababadde bawuliriza. Abafalisaayo nabo babadde bawuliriza era basaanye okukolera ku kubuulirira kwa Yesu okwo. Lwaki? Kubanga ‘baagala nnyo ssente.’ Bwe bawulira ebyo Yesu by’ayogera, “batandika okumunyoomoola.”​—Lukka 15:2; 16:13, 14.

Naye ekyo tekitiisa Yesu. Abagamba nti: “Mmwe mwetwala okuba abatuukirivu mu maaso g’abantu, naye Katonda amanyi emitima gyammwe. Kubanga ekyo abantu kye batwala okuba ekya waggulu, kiba kya muzizo mu maaso ga Katonda.”​—Lukka 16:15.

Abafalisaayo babadde ‘batwalibwa okuba aba waggulu’ okumala ekiseera kiwanvu, naye kati kye kiseera embeera ekyuke. Abo abatwalibwa okuba aba waggulu ennyo olw’okuba balina eby’obugagga bingi, oba obuyinza obw’amaanyi [mu by’obufuzi] oba ebifo ebya waggulu mu ddiini, ba kutowaazibwa. Abantu ba bulijjo abamanyi nti balina obwetaavu okuyiga ebikwata ku Katonda be bajja okutwalibwa nga ba waggulu. Yesu akiraga nti waliwo enkyukakyuka ey’amaanyi egenda mu maaso ng’agamba nti:

“Amateeka ne Bannabbi byalangirirwa okutuuka mu kiseera kya Yokaana. Okuva mu kiseera ekyo Obwakabaka bwa Katonda bulangirirwa ng’amawulire amalungi, era abantu aba buli ngeri bafuba nnyo okubutuukamu. Mazima ddala, kyangu eggulu n’ensi okuggwaawo okusinga akatonnyeze k’ennukuta ey’omu Mateeka okuvaawo nga tekatuukiriziddwa.” (Lukka 3:18; 16:16, 17) Ebigambo bya Yesu ebyo biraga bitya nti waliwo enkyukakyuka egenda mu maaso?

Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ab’amalala beetwala okuba nti bakwata Amateeka ga Musa. Jjukira nti Yesu bwe yawonya omuzibe w’amaaso mu Yerusaalemi, Abafalisaayo baagamba nti: “Ffe tuli bayigirizwa ba Musa. Tumanyi nti Katonda yayogera ne Musa.” (Yokaana 9:13, 28, 29) Ekimu ku bigendererwa by’Amateeka agaaweebwa Musa kwe kuyamba abantu abawombeefu okutegeera Masiya, ng’ono ye Yesu. Yokaana Omubatiza yagamba nti Yesu ye Mwana gw’Endiga owa Katonda. (Yokaana 1:29-34) Okuva Yokaana lwe yatandika obuweereza bwe, Abayudaaya abawombeefu, naddala abaavu, babadde bawulira ebikwata ku “Bwakabaka bwa Katonda.” Mu butuufu, ago ‘mawulire malungi’ eri abo bonna abaagala okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda n’okubuganyulwamu.

Amateeka ga Musa gatuukiriziddwa kubanga gayambye abantu okutegeera Masiya. Olw’ensonga eyo kijja kuba tekikyetaagisa kugagoberera. Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku Mateeka, waabangawo ensonga nnyingi omuntu kwe yasinziiranga okugattululwa ne munne mu bufumbo, naye kati Yesu annyonnyola nti “buli agoba mukazi we n’awasa omulala aba ayenze, n’oyo awasa omukazi eyagobwa aba ayenze.” (Lukka 16:18) Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga binyiizizza nnyo Abafalisaayo abaagala okussaawo amateeka ku buli kintu!

Kati Yesu agera olugero olulaga nti enkyukakyuka ez’amaanyi zigenda mu maaso. Lukwata ku basajja babiri, era nga buli omu ku bo embeera gy’alimu ekyuka mbagirawo. Nga twetegereza olugero luno, kijjukire nti mu abo abawuliriza mulimu n’Abafalisaayo abaagala ennyo ssente n’okutwalibwa nga ba waggulu.

Yesu agamba nti: “Waaliwo omusajja omugagga eyayambalanga engoye eza kakobe n’eza kitaani, buli lunaku eyabeeranga mu bulamu obw’okwejalabya. Era omusajja ayitibwa Laazaalo eyali asabiriza yateekebwanga ku mulyango gw’omugagga oyo. Yali ajjudde amabwa era yeegombanga okulya ebyagwanga okuva ku mmeeza y’omugagga. Embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ge.”​—Lukka 16:19-21.

Okuva bwe kiri nti Abafalisaayo baagala nnyo ssente, kyandiba nti Yesu b’ayogerako ‘ng’omusajja omugagga’? Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya bano nabo bambala ebyambalo eby’ebbeeyi era ebinekaanekana. Ate ng’oggyeeko eby’obugagga bye bayinza okuba nabyo, batwalibwa ng’abagagga olw’enkizo ze balina. Yesu okubageraageranya ku musajja ayambadde engoye eza kakobe kiraga nti balina ekifo kya waggulu, era okuba nti bambadde engoye eza kitaani enjeru kiraga nti beetwala okuba abatuukirivu.​—Danyeri 5:7.

Naye abakulembeze bano abagagga era ab’amalala batwala batya abantu abaavu oba aba wansi? Babatwala nga ‛am ha·’aʹrets, ekitegeeza abantu aba wansi ennyo, abatamanyi era abatasaanira kuyigirizibwa Mateeka. (Yokaana 7:49) Ekyo kyeyolekera ku mbeera y’omusajja “ayitibwa Laazaalo eyali asabiriza,” era eyeegombanga okulya “ebyagwanga okuva ku mmeeza y’omugagga.” Okufaananako Laazaalo ajjudde amabwa, abantu ba bulijjo tebafiibwako era batwalibwa ng’abalwadde mu by’omwoyo.

Embeera eyo embi ebaddewo okumala ekiseera, naye Yesu akimanyi nti wagenda kubaawo enkyukakyuka ey’amaanyi wakati w’abo abalinga omusajja omugagga n’abo abalinga Laazaalo.

EMBEERA Y’OMUSAJJA OMUGAGGA N’EYA LAAZAALO ZIKYUKA

Yesu ayogera ku nkyukakyuka eyo ng’agamba nti. “Oluvannyuma lw’ekiseera omusajja oyo eyali asabiriza yafa, era bamalayika ne bamutwala ne bamuteeka mu kifuba kya Ibulayimu. Omusajja omugagga naye n’afa era n’aziikibwa. Bwe yali emagombe ng’abonaabona, n’ayimusa amaaso ge, n’alengera Ibulayimu ne Laazaalo ng’ali mu kifuba kye.”​—Lukka 16:22, 23.

Abo abawuliriza Yesu bakimanyi bulungi nti Ibulayimu yafa dda era nti ali magombe. Ebyawandiikibwa bikiraga bulungi nti bonna abali emagombe nga mw’otwalidde ne Ibulayimu, tebasobola kulaba wadde okwogera. (Omubuulizi 9:5, 10) Kati kiki abakulembeze b’eddiini bano kye balowooza bwe bawulira olugero lwa Yesu? Kiki Yesu ky’ayinza okuba ng’ategeeza bw’ayogera ku ebyo ebigenda okutuuka ku bantu aba bulijjo ne ku bakulembeze b’eddiini abaagala ennyo ssente?

Yesu yaakamala okulaga enkyukakyuka ey’okubaawo ng’agamba nti ‘Amateeka ne Bannabbi byalangirirwa okutuuka mu kiseera kya Yokaana Omubatiza, naye okuva mu kiseera ekyo Obwakabaka bwa Katonda bulangirirwa ng’amawulire amalungi.’ N’olwekyo, olw’okubuulira kwa Yokaana n’okwa Yesu Kristo wabaawo enkyukakyuka eri Laazaalo n’eri omusajja omugagga ng’enkyukakyuka ezo zigeraageranyizibwa ku kufa, bwe kityo ennyimirira yaabwe mu maaso ga Katonda n’eba ng’ekyuka.

Abantu ba bulijjo era abaavu bamaze ekiseera kiwanvu nga tebaliisibwa mu by’omwoyo. Naye kati bayambibwa okuyitira mu mawulire agakwata ku Bwakabaka Yokaana ge yali abuulira era ne Yesu g’abuulira. Mu biseera ebyayita, baalyanga bukunkumuka ‘obwagwanga okuva ku mmeeza ey’eby’omwoyo’ ey’abakulembeze b’eddiini abo. Naye kati baliisibwa emmere ennungi ey’eby’omwoyo, nga ge mazima agasangibwa mu Byawandiikibwa, naddala ago Yesu g’ayigiriza. Kati tuyinza okugamba nti bali mu kifo eky’enjawulo era bafuna emikisa gya Yakuwa Katonda.

Kyokka, bo abakulembeze b’eddiini abeetwala okuba abagagga baagaana okukkiriza amawulire g’Obwakabaka Yokaana ge yabuulira era ne Yesu g’abadde abuulira mu bitundu byonna. (Matayo 3:1, 2; 4:17) Mu butuufu, bawulira obusungu oba babonyabonyezebwa olw’obubaka obwo obwogera ku musango Katonda gw’agenda okubasalira. (Matayo 3:7-12) Singa Yesu n’abayigirizwa be balekera awo okulangirira obubaka obuva eri Katonda, abakulembeze b’eddiini abo abaagala ennyo ssente bayinza okuwulira obuweerero obw’amaanyi. Abakulembeze abo balinga omusajja omugagga ayogerwako mu lugero, agamba nti: “Kitange Ibulayimu, nsaasira otume Laazaalo annyike akasongezo k’olugalo lwe mu mazzi aweweeze olulimi lwange kubanga ndi mu bulumi bwa maanyi mu muliro guno ogwaka ennyo.”​—Lukka 16:24.

Naye ekyo tekigenda kubaawo, kubanga abakulembeze b’eddiini abasinga obungi tebagenda kukyuka. Baagaana okuwuliriza “Musa ne Bannabbi,” abaawandiika ebintu ebyandibayambye okukkiriza Yesu nga Masiya era Kabaka Katonda gw’alonze. (Lukka 16:29, 31; Abaggalatiya 3:24) Ate era olw’okuba si bawombeefu, bagaana okuwuliriza abantu abaavu abakkirizza Yesu era kati abasiimibwa Katonda. Abayigirizwa ba Yesu nabo tebasobola kufeebya oba kusaabulula mazima olw’okusanyusa obusanyusa abakulembeze b’eddiini. Ekyo kyeyolekera mu bigambo “Ibulayimu” by’agamba omusajja omugagga:

“Mwana wange, jjukira nti mu bulamu bwo wafuna ebintu ebirungi bingi, naye ye Laazaalo yafuna bibi. Naye kati ye ali bulungi eno naye nga ggwe oli mu bulumi. Ng’oggyeeko ebyo byonna, wateekeddwawo olukonko olunene wakati waffe nammwe, ne kiba nti abo abaagala okuva eno okujja gye muli tebasobola, era abantu tebayinza kusala kuva eyo ne bajja gye tuli.”​—Lukka 16:25, 26.

Kituukirawo era kya bwenkanya enkyukakyuka eyo okubaawo! Abakulembeze b’eddiini ab’amalala bafeebezebwa naye abantu abawombeefu abakkiriza ekikoligo kya Yesu babudaabudibwa era baliisibwa mu by’omwoyo. (Matayo 11:28-30) Enkyukakyuka eno ejja kweyoleka bulungi mu myezi eginaddirira, endagaano y’Amateeka bw’eneeggibwawo ne waddawo endagaano empya. (Yeremiya 31:31-33; Abakkolosaayi 2:14; Abebbulaniya 8:7-13) Katonda bw’anaafuka omwoyo omutukuvu ku baweereza be ku lunaku lwa Pentekooti ey’omwaka 33 E.E., kijja kutegeerwa bulungi nti Katonda asiima bayigirizwa ba Yesu so si Abafalisaayo n’abo be bakolagana nabo.