ESSUULA 84
Okuba Omuyigirizwa—Kikulu Kwenkana Wa?
-
EKIZINGIRWA MU KUBA OMUYIGIRIZWA
Yesu ayigirizza ebintu ebikulu ennyo ng’ali ku kijjulo ew’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo. Kati Yesu yeeyongerayo ku lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi, era ekibiina ky’abantu ekinene kimugoberera. Lwaki? Ddala abantu abo baagala okufuuka abagoberezi be aba nnamaddala, ka kibe ki ekizingirwamu?
Bwe baba batambula nga bagenda, Yesu ayogera ekintu ekiyinza okwewuunyisa abamu. Agamba nti: “Omuntu bw’ajja gye ndi n’atakyawa taata we, maama we, mukazi we, abaana be, baganda be, bannyina awamu n’obulamu bwe, tayinza kubeera muyigirizwa wange.” (Lukka 14:26) Kiki Yesu ky’ategeeza?
Yesu tagamba nti abayigirizwa be balina okukyawa ab’eŋŋanda zaabwe. Mu kifo ky’ekyo, Yesu alaga nti okwagala kwe balina eri ab’eŋŋanda zaabwe tekulina kusinga okwo kwe balina eri ye, nga bwe kyali eri omusajja gwe yayogeddeko mu lugero, eyagaana okugenda ku kijjulo olw’okuba yali yaakawasa. (Lukka 14:20) Bayibuli eraga nti jjajja w’Abayudaaya Yakobo ‘yakyawa’ Leeya n’ayagala Laakeeri, ekitegeeza nti okwagala kwe yalina eri Laakeeri kwali kusinga okwo kwe yalina eri Leeya.—Olubereberye 29:31; obugambo obuli wansi.
Yesu era agamba nti omuyigirizwa we alina okukyawa “obulamu bwe.” Ekyo kitegeeza nti omuyigirizwa owa nnamaddala alina okwagala Yesu okusinga bw’ayagala obulamu bwe, n’aba nga mwetegefu n’okubufiirwa bwe kiba nga kyetaagisa. Mu butuufu, okuba omuyigirizwa wa Kristo, buvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo, era tebusaanidde kutwalibwa ng’ekintu eky’omuzannyo. Omuntu yeetaaga okufumiitiriza ennyo nga tannasalawo kufuuka muyigirizwa wa Kristo.
Okuba omuyigirizwa wa Yesu kiyinza okuviirako omuntu okwolekagana n’embeera enzibu oba okuyigganyizibwa. Yesu agamba nti: “Buli ateetikka muti gwe ogw’okubonaabona n’angoberera, tayinza kubeera muyigirizwa wange.” (Lukka 14:27) Mu butuufu, omuyigirizwa wa Yesu owa nnamaddala alina okuba omwetegefu okuvumibwa nga Yesu bwe yavumibwa. Yesu agamba nti abalabe be bajja kutuuka n’okumutta.
Bwe kityo, abo abatambula ne Yesu basaanidde okufumiitiriza ennyo ku ebyo ebizingirwa mu kuba omuyigirizwa wa Kristo. Yesu akkaatiriza ensonga eyo ng’awa ekyokulabirako kino. Agamba nti: “Ani ku mmwe ayagala okuzimba omunaala atasooka kutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa okulaba obanga alina ebimala okugumaliriza? Bw’atakikola, ayinza okuzimba omusingi naye n’alemererwa okumaliriza okuzimba omunaala.” (Lukka 14:28, 29) N’olwekyo, nga tebannaba kufuuka bayigirizwa ba Yesu, abantu abatambula naye ng’agenda e Yerusaalemi basaanidde okuba abamalirivu okutuukiriza mu bujjuvu obuvunaanyizibwa obuzingirwamu. Yesu yeeyongera okulaga obukulu bw’ensonga eyo ng’awa ekyokulabirako ekirala. Agamba nti:
“Kabaka ki agenda okulwana ne kabaka alina abasirikale 20,000 atasooka kutuula wansi ne yeebuuza Lukka 14:31-33.
ku banne obanga anaasobola okumulwanyisa ng’alina abasirikale 10,000? Bw’aba nga ddala taasobole kumulwanyisa, atuma ababaka n’asaba batabagane ng’oli akyali wala.” Okusobola okukkaatiriza ensonga eyo, Yesu agamba nti: “Bwe kityo nno, mukimanye nti buli muntu yenna ku mmwe bw’ateefiiriza bintu bye tayinza kuba muyigirizwa wange.”—Kya lwatu nti ebigambo bya Yesu ebyo tebikwata ku kibiina ky’abantu abo bokka abatambula naye. Mu butuufu, abo bonna abayiga ebikwata ku Kristo balina okuba abeetegefu okukolera ku ebyo by’agamba. Bwe baba ab’okuba abayigirizwa ba Yesu, balina okuba abeetegefu okwefiiriza buli kimu kye balina, kwe kugamba, ebintu byabwe awamu n’obulamu bwabwe. Eyo nsonga nkulu nnyo omuntu gy’asaanidde okufumiitirizaako n’okuteeka mu ssaala ze.
Kati Yesu addamu okwogera ku kintu kye yayogerako mu kubuulira kwe okw’oku Lusozi bwe yagamba nti abayigirizwa be “munnyo gwa nsi.” (Matayo 5:13) Ayinza okuba nga yali alaga nti ng’omunnyo bwe gukuuma ekintu obutayonooneka, n’abayigirizwa be basobola okuyamba abantu obutayonoonebwa mu by’omwoyo ne mu mpisa. Kati ng’anaatera okumaliriza obuweereza bwe, agamba nti: “Gwo omunnyo mulungi; naye singa gusaabulukuka, kiki ekiyinza okuzzaamu obuka bwagwo?” (Lukka 14:34) Abo abamuwuliriza bakimanyi bulungi nti ogumu ku munnyo oguli mu kitundu ekyo si mulungi kubanga gutabuddwamu ebintu ebirala, bwe kityo ne guba nga tegukyalina nnyo mugaso.
Bwe kityo, Yesu akiraga nti n’abo abamaze ebbanga eddene nga bayigirizwa be balina okufuba okulaba nti tebaddirira mu ekyo kye baasalawo okukola. Singa baddirira, baba tebakyali ba mugaso, okufaananako omunnyo ogusaabulukuse. Singa ekyo kibaawo, abantu basobola okubasekerera. Okugatta ku ekyo, baba tebakyasiimibwa mu maaso ga Katonda, era bayinza n’okuleeta ekivume ku linnya lye. Yesu akiraga nti kikulu nnyo okwewala ebyo okubaawo ng’agamba nti: “Alina amatu ag’okuwulira, awulire.”—Lukka 14:35.