Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 7

Abalaguzisa Emmunyeenye Bagenda Okulaba Yesu

Abalaguzisa Emmunyeenye Bagenda Okulaba Yesu

MATAYO 2:1-12

  • ABALAGUZISA EMMUNYEENYE BALABA “EMMUNYEENYE” NE BAGENDA E YERUSAALEMI, N’OLUVANNYUMA AWALI YESU

Waliwo abasajja balaguzisa emmunyeenye abavudde Ebuvanjuba. Abasajja abo beetwala okuba nti basobola okwetegereza emmunyeenye ne bamanya ebinaatuuka ku bantu mu biseera eby’omu maaso. (Isaaya 47:13) Bwe baba bali ewaabwe Ebuvanjuba, balaba “emmunyeenye” era ne batindigga olugendo oluwanvu ne bagenda e Yerusaalemi, so si e Besirekemu.

Abalaguzisa emmunyeenye bwe batuuka e Yerusaalemi, babuuza nti: “Kabaka w’Abayudaaya eyazaalibwa ali ludda wa? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli Ebuvanjuba era tuzze okumuvunnamira.”​—Matayo 2:1, 2.

Kabaka Kerode owa Yerusaalemi awulira ebintu ebyo, n’atya nnyo. Bw’atyo ayita bakabona abakulu n’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abalala n’ababuuza wa Kristo gy’alina okuzaalibwa. Nga basinziira ku Byawandiikibwa, bamugamba nti: “Mu Besirekemu.” (Matayo 2:5; Mikka 5:2) Awo, Kerode ayita mu kyama abalaguzisa emmunyeenye n’abagamba nti: “Mugende munoonye omwana era bwe mumuzuula mukomewo mumbuulire nange ŋŋende mmuvunnamire.” (Matayo 2:8) Naye ekituufu kiri nti, Kerode ayagala kutta mwana oyo!

Abalaguzisa emmunyeenye bwe bava ewa kabaka, ekintu ekitali kya bulijjo kibaawo. “Emmunyeenye” gye baalaba nga bali Ebuvanjuba etambula ng’ebakulembera. Kya lwatu nti emmunyeenye eno si ya bulijjo; eteekeddwawo okubalagirira. Abalaguzisa emmunyeenye bagigoberera okutuusa lw’eyimirira waggulu awali ennyumba Yusufu, Maliyamu, awamu n’omwana waabwe kati mwe basula.

Abalaguzisa emmunyeenye bwe bayingira mu nnyumba, basangamu Maliyamu ne Yesu, era ne bavunnamira Yesu. Okugatta ku ekyo, bamuwa ebirabo omuli zzaabu, obubaani obweru, n’eby’akawoowo ebiyitibwa mirra. Oluvannyuma, bwe baba bateekateeka okuddayo ewa Kerode, Katonda ayitira mu kirooto n’abalabula obutakikola. Bwe kityo, baddayo mu nsi yaabwe nga bayita mu kkubo eddala.

Olowooza ani yateekawo “emmunyeenye” eyo eyalagirira abasajja abo? Kijjukire nti, emmunyeenye eyo teyasooka kubalagirira kugenda butereevu Besirekemu, Yesu gye yali. Mu kifo ky’ekyo, yabalagirira Yerusaalemi, gye baasanga Kabaka Kerode, eyali ayagala okutta Yesu. Mu butuufu, Kerode yandisse Yesu singa Katonda teyagaana Abalaguzisa emmunyeenye okuddayo eri Kerode okumubuulira Yesu gy’ali. Kyeyoleka lwatu nti omulabe wa Katonda, Sitaani, ye yali ayagala Yesu attibwe, era ye yakola enteekateeka eyo okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.