Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 1

Obubaka obw’Emirundi Ebiri Obuva eri Katonda

Obubaka obw’Emirundi Ebiri Obuva eri Katonda

LUKKA 1:5-33

  • MALAYIKA GABULYERI ALANGA OKUZAALIBWA KWA YOKAANA OMUBATIZA

  • GABULYERI ABUULIRA MALIYAMU EBIKWATA KU KUZAALIBWA KWA YESU

Obubaka bwonna obuli mu Bayibuli bwava eri Katonda. Kitaffe ow’omu ggulu yatuwa Bayibuli okutuyigiriza. Kyokka weetegereze obubaka obukulu ennyo obw’emirundi ebiri obwava eri Katonda emyaka nga 2,000 emabega. Obubaka obwo bwaleetebwa malayika ayitibwa Gabulyeri, “ayimirira mu maaso ga Katonda.” (Lukka 1:19) Mbeera ki eyaliwo, malayika oyo we yaleetera obubaka obwo obukulu ennyo?

Omwaka gwa 3 E.E.T. Obubaka obusooka Gabulyeri abuweera wa? Mu nsozi z’e Buyudaaya, oboolyawo okumpi ne Yerusaalemi, waliyo kabona wa Yakuwa ayitibwa Zekkaliya. Zekkaliya ne mukyala we Erizabeesi bakaddiye, era tebalina mwana. Ekiseera kya Zekkaliya kituuse okugenda okuweereza nga kabona mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi. Zekkaliya bw’aba mu yeekaalu, Gabulyeri amulabikira okumpi n’ekyoto kwe bootereza obubaane.

Tewali kubuusabuusa nti ekyo kitiisa nnyo Zekkaliya. Naye malayika agumya Zekkaliya, ng’amugamba nti: “Totya Zekkaliya kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erizabeesi ajja kukuzaalira omwana ow’obulenzi, era ojja kumutuuma Yokaana.” Gabulyeri agattako nti Yokaana “aliba mukulu mu maaso ga Yakuwa” era ajja ‘kuteekerateekera Yakuwa abantu abamusaanira.’​—Lukka 1:13-17.

Kyokka, Zekkaliya alaba ng’ekyo ekitasoboka. Lwaki? Kubanga ye ne mukyala we bakaddiye. Bwe kityo, Gabulyeri amugamba nti: “Ojja kuziba omumwa era tojja kusobola kwogera okutuusa ebintu bino lwe birituukirira olw’okuba tokkirizza bigambo byange.”​—Lukka 1:20.

Mu kiseera ekyo, abantu abali ebweru balaba nga Zekkaliya aluddeyo nnyo munda mu yeekaalu. Kya ddaaki afuluma yeekaalu, naye nga tayogera. Mu kifo ky’ekyo, abakolera bukolezi bubonero. Kyeyoleka lwatu nti alina ekintu ekitali kya bulijjo ky’alabye.

Oluvannyuma lw’okuweereza ku yeekaalu, Zekkaliya addayo eka. Wayitawo ekiseera kitono, Erizabeesi n’afuna olubuto! Erizabeesi asalawo okubeera awaka okumala emyezi etaano nga tagenda mu bantu.

Gabulyeri addamu okulabika omulundi ogw’okubiri. Alabikira ani? Alabikira omukazi atali mufumbo ayitibwa Maliyamu, abeera mu kitundu ekisangibwa mu bukiikakkono bwa Ggaliraaya, mu kibuga ekiyitibwa Nazaaleesi. Kiki malayika ky’amugamba? Amugamba nti: “Osiimiddwa mu maaso ga Katonda.” Gabulyeri era agamba Maliyamu nti: “Laba! oliba olubuto era olizaala omwana ow’obulenzi era olimutuuma erinnya Yesu.” Gabulyeri agattako nti: “Oyo aliba mukulu era aliyitibwa Mwana w’Oyo Asingayo Okuba Waggulu, . . . alifuga ennyumba ya Yakobo nga Kabaka emirembe gyonna, era Obwakabaka bwe tebuliggwaawo.”​—Lukka 1:30-33.

Kya lwatu nti Gabulyeri agitwala nga nkizo ya maanyi okuleeta obubaka obwo obw’emirundi ebiri obuva eri Katonda. Okwetegereza ebisingawo ebikwata ku Yokaana ne Yesu, kisobola okutuyamba okulaba ensonga lwaki obubaka obwo bukulu nnyo.