Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 6

Omwana Eyasuubizibwa

Omwana Eyasuubizibwa

LUKKA 2:21-39

  • YESU AKOMOLEBWA, OLUVANNYUMA ATWALIBWA MU YEEKAALU

Yusufu ne Maliyamu basigala mu Besirekemu mu kifo ky’okuddayo e Nazaaleesi. Yesu bw’aweza ennaku munaana, akomolebwa, ng’Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri bwe gagamba. (Eby’Abaleevi 12:2, 3) Era mpisa y’Abayisirayiri okutuuma omwana ow’obulenzi erinnya ku olwo. Omwana waabwe bamutuuma Yesu, nga malayika Gabulyeri bwe yabagamba.

Kati wayise omwezi nga gumu, era Yesu wa nnaku 40. Bazadde be kati bamutwala wa? Bamutwala ku yeekaalu e Yerusaalemi, ekifo ekitali wala nnyo okuva we babeera. Amateeka gagamba nti nga wayise ennaku 40 oluvannyuma olw’omwana ow’obulenzi okuzaalibwa, maama we aba alina okuwaayo ekiweebwayo eky’okutukuzibwa ku yeekaalu.​—Eby’Abaleevi 12:4-8.

Ekyo kyennyini Maliyamu ky’akola. Maliyamu awaayo obunyonyi obutono bubiri ng’ekiweebwayo kye. Ekyo kituyamba okutegeera embeera y’eby’enfuna Yusufu ne Maliyamu gye balimu. Okusinziira ku Mateeka, omukazi aba azadde alina okuwaayo endiga ento n’ekinyonyi. Naye bw’aba nga tasobola kuwaayo ndiga, asobola okuwaayo bukaamukuukulu bubiri oba amayiba abiri. Obunyonyi obwo Maliyamu bw’asobola okuwaayo, era ekyo ky’akola.

Ku yeekaalu, wabaawo omusajja omukadde atuukirira Yusufu me Maliyamu. Omusajja oyo ayitibwa Simyoni. Katonda amutegeezezza nti, nga tannafa, ajja kulaba ku Kristo oba Masiya, Yakuwa gwe yasuubiza. Omwoyo omutukuvu gukulembera Simyoni okugenda ku yeekaalu gy’asanga Yusufu ne Maliyamu nga bali n’omwana waabwe omuto. Simyoni akwata Yesu n’amusitula.

Ng’asitudde Yesu, Simyoni yeebaza Katonda ng’agamba nti: “Mukama Afuga Byonna, olese omuddu wo agende mirembe nga bwe wayogera, kubanga amaaso gange galabye oyo aleeta obulokozi gwe wateekawo mu maaso g’abantu bonna, ekitangaala ekiggyawo ekizikiza ekibisse amawanga era ekitiibwa ky’abantu bo Isirayiri.”​—Lukka 2:29-32.

Ebigambo ebyo byewuunyisa nnyo Yusufu ne Maliyamu. Simyoni abawa omukisa era n’agamba Maliyamu nti omwana we “alondeddwa okuviirako bangi okugwa n’okuyimuka mu Isirayiri” era nti yandifunye ennaku ey’amaanyi, eringa okufumita okw’ekitala eky’obwogi.​—Lukka 2:34.

Waliwo n’omuntu omulala aliwo. Erinnya lye ye Ana, nnabbi omukazi ow’emyaka 84. Mu butuufu, Ana tayosa kugenda ku yeekaalu. Ana agenda awali Yusufu, Maliyamu, n’omwana waabwe Yesu. Ana atandika okwebaza Katonda n’okubuulira abalala ebikwata ku Yesu.

Tewali kubuusabuusa nti ebyo byonna ebigenda mu maaso bireetera Yusufu ne Maliyamu essanyu lingi! Mu butuufu, ebintu ebyo byonna byeyongera okubakakasa nti omwana waabwe y’Oyo Katonda gwe yali yasuubiza.