Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Osobola Okukoppa Yesu . . .

Osobola Okukoppa Yesu . . .

NG’OBA MUSAASIZI

Olw’okuba Yesu yali atuukiridde, teyafuna bizibu abantu abasinga obungi be yalimu bye baali bafuna. Wadde kyali kityo, yafangayo nnyo ku bantu. Yabanga mwetegefu okukola kyonna ekyetaagisa okubayamba. Mu butuufu, olw’okuba Yesu yali musaasizi nnyo ekyo kyamukubiriza okuyamba abalala. Lowooza ku ebyo ebiri mu Ssuula 32, 37, 5799.

NG’OBA OMUNTU ATUUKIRIKIKA

Abantu ab’emyaka egy’enjawulo, abato n’abakulu, baali basobola okutuukirira Yesu olw’okuba yali mwetegefu okubawa obudde era nga teyeegulumiza. Olw’okuba abantu baali bakiraba nti Yesu abafaako nnyo, baawuliranga bulungi okubeera w’ali. Weetegereze ensonga eyo mu Ssuula 25, 2795.

NG’ONYIIKIRIRA OKUSABA

Yesu yanyiikiriranga okusaba Kitaawe, ng’ali yekka era ne bwe yabanga ali wamu n’abaweereza ba Katonda ab’amazima. Teyasabanga mu biseera bya kulya byokka. Yasabanga nga yeebaza Kitaawe, ng’amutendereza, era yamusabanga obulagirizi nga tannasalawo ku nsonga enkulu. Laba ebyokulabirako mu Ssuula 24, 34, 91, 122, 123.

NGA TEWEEFAAKO WEKKA

Wadde ng’oluusi Yesu yayagalanga okuwummulamu, emirundi mingi ekyo yakyefiirizanga asobole okuyamba abalala. Yesu yali teyeerowoozaako yekka. Ne mu nsonga eyo, yatuteerawo ekyokulabirako kye tusobola okukoppa. Soma ku nsonga eyo mu Ssuula 19, 4152.

NG’OSONYIWA ABALALA

Ng’oggyeeko okukubiriza abalala okusonyiwa, Yesu yasonyiwanga abayigirizwa be n’abantu abalala. Lowooza ku byokulabirako ebiri mu Ssuula 26, 40, 64, 85, 131.

NG’OBA MUNYIIKIVU

Obunnabbi bwali bwalaga nti Abayudaaya abasinga obungi bandigaanye okukkiriza Masiya era nti abalabe be bandimusse. Oboolyawo ekyo kyandireetedde Yesu obutaba munyiikivu mu buweereza bwe. Kyokka, Yesu yayoleka obunyiikivu mu buweereza bwe. Yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obunyiikivu, naddala eri abagoberezi be ababuulira mu bitundu ng’abantu tebaagala bubaka bwabwe oba nga babaziyiza. Laba Essuula 16, 72, 103.

NG’OBA MWETOOWAZE

Olw’okuba Yesu yali atuukiridde yalina obusobozi obusingira ewala obw’abantu abatatuukiridde. Yalina okumanya kungi n’amagezi mangi okubasinga era yali abasinga ne mu bintu ebirala bingi. Wadde kyali kityo, Yesu yayoleka obwetoowaze ng’aweereza abalala. Laba ebikwata ku nsonga eyo mu Ssuula 10, 62, 66, 94, 116.

NG’OBA MUGUMIIKIRIZA

Yesu yayoleka obugumiikiriza eri abatume be n’abantu abalala bwe baabanga balemeddwa okumukoppa oba okukolera ku ebyo bye yabanga abagambye. Yayoleka obugumiikiriza ng’addiŋŋana ensonga ze baabanga beetaaga okumanya okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Laba engeri Yesu gye yayolekamu obugumiikiriza mu Ssuula 74, 98, 118, 135.