Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 17

Ekisobola Okukuleetera Essanyu

Ekisobola Okukuleetera Essanyu

Lwaki Yakuwa ayitibwa “Katonda omusanyufu”?

FFENNA twagala okuba abasanyufu, si bwe kiri?— Naye abantu bangi si basanyufu. Omanyi lwaki?— Kubanga tebamanyi ekyo ekisobola okubaleetera essanyu. Balowooza nti okufuna ebintu ebingi kye kisobola okubaleetera essanyu. Naye ne bwe bafuna ebintu ebyo, essanyu lyabwe teriba lya lubeerera.

Weetegereze ekisobola okutuleetera essanyu. Omuyigiriza Omukulu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Kati olwo, kiki ekisobola okutuleetera essanyu?— Yee, okugaba n’okukolera abalala ebintu ebirungi kisobola okutuleetera essanyu. Ekyo obadde okimanyi?—

Ka twongere okulowooza ku nsonga eno ey’okugaba. Ddala Yesu yali ategeeza nti oyo aba aweereddwa ekirabo tasanyuka?— Nedda, si kye yali ategeeza. Ate ggwe, oyagala okuweebwa ebirabo?— Buli omu ayagala. Tusanyuka nnyo bwe tuweebwa ebintu ebirungi.

Naye Yesu yagamba nti oyo agaba y’asinga okusanyuka. Olowooza ani asinga okugabira abantu?— Yee, Yakuwa Katonda.

Bayibuli egamba nti Katonda “awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna.” Atuwa enkuba n’omusana, ebisobozesa ebimera okukula ne tufuna emmere ey’okulya. (Ebikolwa 14:17; 17:25) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Bayibuli eyita Yakuwa “Katonda omusanyufu”! (1 Timoseewo 1:11) Okugaba kye kimu ku bintu ebisanyusa Katonda. Era naffe bwe tugabira abalala, tusobola okufuna essanyu.

Kiki ekiyinza okukuleetera essanyu okusinga okulya kabalagala yenna nga tolina gw’owaddeko?

Kati olowooza kiki kye tusobola okugabira abantu abalala?— Oluusi ebirabo bigulwa ssente. Ekirabo bw’oba ow’okukiggya mu dduuka, olina okukisasulira. N’olwekyo, bw’oba oyagala okugaba ekirabo ng’ekyo, kiyinza okukwetaagisa okutereka ssente okutuusa lw’oweza ezikigula.

Kyokka tekiri nti ebirabo byonna tulina kubigula buguzi. Ng’ekyokulabirako, omusana bwe guba gwaka nnyo, omuntu aba ayagala okunywa amazzi agannyogoga. N’olwekyo, omuntu alumwa ennyonta bw’omuwa amazzi ago, osobola okufuna essanyu eriva mu kugaba.

Ggwe ne maama wo muyinza okusiika kabalagala. Ekyo kisobola okukusanyusa. Naye mu kifo ky’okulya kabalagala oyo wekka, kiki ky’oyinza okukola ne kikuleetera essanyu lingi?— Yee, osobola okugabirako abamu ku mikwano gyo. Ekyo wandyagadde olumu okukikola?—

Omuyigiriza omukulu n’abatume be, baali bamanyi essanyu eriva mu kugaba. Omanyi kye baagabira abantu abalala?— Kye kintu ekisingayo obulungi mu nsi! Baali bamanyi amazima agakwata ku Katonda era kyabaleetera essanyu okubuulira abantu abalala amawulire ago amalungi. Ekyo baakikola awatali kusaba muntu yenna ssente.

Lumu omutume Pawulo ne mukwano gwe Lukka baasanga omukazi eyali ayagala okufuna essanyu eriva mu kugaba. Baamusanga okumpi n’omugga. Pawulo ne Lukka baagenda mu kifo ekyo kubanga baali bawulidde nti kyali kya kusabiramu. Era bwe baatuuka mu kifo ekyo, baasangayo abakazi abamu nga basaba.

Pawulo yatandika okubuulira abakazi abo amawulire amalungi agakwata ku Yakuwa Katonda n’Obwakabaka bwe. Omu ku bakazi abo yali ayitibwa Liidiya, era yabawuliriza bulungi. Oluvannyuma, Liidiya yayagala okubaako ky’akolawo okulaga nti yali asiimye amawulire amalungi ge baali baamubuulidde. N’olwekyo yagamba Pawulo ne Lukka nti: “Bwe muba mulabye nti ndi mwesigwa eri Yakuwa, muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo.” Bw’atyo n’abakkirizisa okuyingira mu nnyumba ye.​—Ebikolwa 16:13-15.

Kiki Liidiya ky’agamba Pawulo ne Lukka?

Liidiya yasanyuka nnyo okubeera n’abaweereza ba Katonda bano mu nnyumba ye. Yabaagala nnyo kubanga baamuyamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa ne Yesu era n’engeri abantu gye basobola okubeerawo emirembe gyonna. Kyamusanyusa nnyo okuwa Pawulo ne Lukka emmere n’ekifo aw’okusula. N’olwekyo, Liidiya yafuna essanyu lingi mu kugaba kubanga yali ayagala nnyo okukikola. Ekyo kye kintu kye tusaanidde okujjukira. Omuntu ayinza okutugamba okugaba ekirabo. Naye bwe tukigaba nga tetwagala, tetujja kufuna ssanyu.

Lwaki Liidiya musanyufu nnyo okusembeza Pawulo ne Lukka?

Ng’ekyokulabirako, watya ng’olina swiiti gw’oyagala okulya? Singa nkugamba ogabireko omwana omulala, wandyagadde okukikola?— Naye watya singa olina swiiti n‘osanga mukwano gwo gw’oyagala ennyo? Ggwe bwe weesalirawo okumuwa ku swiiti, ekyo tekyandikusanyusiza?—

Oluusi twagala nnyo omuntu ne tutuuka n’okwagala okumuwa kyonna kye tulina. Mu ngeri y’emu, bwe tweyongera okwagala Katonda, tujja kwagala okumuwa kyonna kye tulina.

Lwaki omukyala ono omwavu yasanyuka nnyo okuwaayo kyonna kye yalina?

Waliwo omukyala omu omwavu Omuyigiriza Omukulu gwe yali amanyi eyawaayo kyonna ky’alina. Yamulaba mu yeekaalu e Yerusaalemi. Yalina obusente bubiri, era nga bwe bwokka bwe yalina. Naye bwombi yabuteeka mu kasanduuko ng’ekirabo kya yeekaalu. Tewali n’omu yamugamba kubuwaayo. Era abantu abasinga obungi abaali mu yeekaalu tebaamanya ekyo kye yawaayo. Yabuwaayo kubanga yali ayagala era n’olw’okuba yali ayagala nnyo Yakuwa. Okugaba okwo kwamuleetera essanyu.​—Lukka 21:1-4.

Okugaba kuyinza okukolebwa mu ngeri nnyingi. Oyinza okumbuulirayo ezimu ku ngeri ezo?— Bwe tugaba nga twagala, kijja kutuleetera essanyu. Eyo ye nsonga lwaki Omuyigiriza Omukulu yatugamba nti: “Mugabenga.” (Lukka 6:38) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuleetera abantu abalala essanyu. Naye ffe tujja okusinga okufuna essanyu!

Ka tusome ebyawandiikibwa ebirala ebiraga engeri okugaba ggye kuleeta essanyu: Matayo 6:1-4; Lukka 14:12-14; ne 2 Abakkolinso 9:7.