Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 40

Engeri y’Okusanyusaamu Katonda

Engeri y’Okusanyusaamu Katonda

KIKI kye tuyinza okukola okusobola okusanyusa Katonda? Waliwo ekintu kyonna kye tuyinza okumuwa?— Yakuwa agamba: “Ensolo zonna ez’omu kibira zange.” Era agamba nti: ‘Ffeeza wange ne zaabu wange.’ (Zabbuli 24:1; 50:10; Kaggayi 2:8) Naye, waliwo ekintu kye tusobola okuwa Katonda. Okimanyi?—

Yakuwa atuleka ne twesalirawo okumuweereza oba obutamuweereza. Tatukaka kukola ekyo ky’ayagala. Ka tulabe ensonga lwaki Katonda yatutonda nga tusobola okwesalirawo okumuweereza oba obutamuweereza.

Oyinza okuba ng’omanyi nti eriyo ebyuma ebiyitibwa roboti ebikola emirimu egimu abantu gye bakola. Ebyuma bino bisobola okukola ekyo kyonna oyo eyabikola ky’aba ayagala bikole. N’olwekyo ebyuma ng’ebyo tebisobola kwesalirawo kya kukola. Yakuwa yali asobola okutukola nga tulinga ebyuma ebyo, nga tukola ebyo byokka by’ayagala tukole. Naye ekyo si kye yakola. Omanyi lwaki?— Ebintu ebimu abaana bye bazannyisa biringa ebyuma ebyo. Bw’onyiga eppeesa, bitandika okukola ebyo bye birina okukola. Wali olabye ebintu abaana bye bazannyisa ebifaananako bwe bityo?— Oluusi abantu bakoowa okuzannyisa ebintu ng’ebyo ebikola ekyo kyokka kye byategekerwa okukola. Yakuwa tayagala tubeere ng’ebyuma ebikola obukozi ekyo kye byategekerwa okukola. Ayagala tumuweereze olw’okuba tumwagala era olw’okuba twagala okumugondera.

Lwaki Katonda teyatukola nga roboti eno?

Olowooza Kitaffe ow’omu ggulu awulira atya bwe tumugondera kyeyagalire?— Olowooza bazadde bo bayisibwa batya olw’engeri gye weeyisaamu?— Bayibuli egamba nti omwana ow’amagezi “asanyusa kitaawe” naye omwana omusirusiru “anakuwaza nnyina.” (Engero 10:1) Okyetegerezza nti maama wo ne taata wo basanyuka nnyo bw’okola ekyo kye baba bakugambye?— Naye bawulira batya bw’obajeemera?—

Biki by’oyinza okukola okusobola okusanyusa Yakuwa ne bazadde bo?

Kati ka tulowooze ku Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa. Atubuulira engeri gye tusobola okumusanyusaamu. Nkusaba obikkule Bayibuli yo tusome Engero 27:11. Mu kyawandiikibwa ekyo, Katonda atugamba nti: ‘Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo ansoomooza.’ Omanyi kye kitegeeza okusoomooza omuntu?— Omuntu asobola okukusoomooza ng’akusekerera era ng’akugamba nti olemereddwa okukola ekyo kye wagambye okukola. Sitaani yasoomooza atya Yakuwa?— Ka tulabe.

Jjukira nti mu Ssuula 8 ey’ekitabo kino, twayiga nti Sitaani ayagala okuba nga y’asinga okuba owa waggulu era ayagala buli omu amugondere. Sitaani agamba nti abantu basinza Yakuwa olw’okuba Yakuwa agenda okubawa obulamu obutaggwaawo. Sitaani bwe yaleetera Adamu ne Kaawa okujeemera Yakuwa, yasoomooza Katonda ng’agamba nti: ‘Abantu bakuweereza olw’okuba balina kye bafuna okuva gy’oli. Singa ompa akakisa, bonna nsobola okubakuggyako.’

Sitaani yasoomooza atya Yakuwa nga Adamu ne Kaawa bamaze okwonoona?

Kyo kituufu, ebigambo ebyo tebiri mu Bayibuli. Naye bwe tusoma ebikwata ku musajja Yobu, tukitegeera bulungi nti Sitaani yagamba Katonda ebigambo ebifaananako bwe bityo. Mu butuufu, obwesigwa bwa Yobu yali nsonga nkulu nnyo eri Sitaani ne Yakuwa. Ka tubikkule Bayibuli tusome Yobu essuula 1 ne 2 tulabe ekyo ekyaliwo.

Weetegereze nti mu Yobu essuula 1, Sitaani yali mu ggulu bamalayika bwe bajja okulaba Yakuwa. Awo Yakuwa yabuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani yamuddamu nti yali ava kutambulatambula mu nsi. Yakuwa yamubuuza nti: ‘Olabye omuweereza wange Yobu, omusajja atakola kintu kyonna kibi?’​—Yobu 1:6-8.

Amangu ago Sitaani yabaako kye yeekwasa. Yagamba nti: ‘Yobu akusinza olw’okuba talina kizibu kyonna. Naye singa olekera awo okumukuuma n’okumuwa emikisa, ajja kukwegaanira mu maaso go.’ Yakuwa yagamba Sitaani nti: ‘Yobu osobola okumukola kyonna ky’oyagala, kyokka ye kennyini tomukolako kabi.’​—Yobu 1:9-12.

Kiki Sitaani kye yakola?— Yaleetera abantu okubba ente za Yobu n’endogoyi ze era ne batta n’abo abaali bazirabirira. Oluvannyuma lw’ekyo, laddu yatta endiga n’abo abaali bazirunda. Ng’ekyo kimaze okubaawo, abantu bajja ne babba eŋŋamira era ne batta n’abo abaali bazirunda. Oluvannyuma, Sitaani yaleeta omuyaga ogw’amaanyi ne gusuula ennyumba eyalimu abaana ba Yobu ekkumi, bonna ne bafiiramu. Wadde nga Yobu yafuna ebizibu ebyo byonna, yasigala aweereza Yakuwa.​—Yobu 1:13-22.

Yakuwa bwe yaddamu okulaba Sitaani, yamugamba nti Yobu akyali mwesigwa. Era Sitaani yabaako kye yeekwasa ng’agamba nti: ‘Singa ondeka ne ntuusa akabi ku mubiri gwe, ajja kukwegaanira mu maaso go.’ Yakuwa yaleka Sitaani n’atuusa akabi ku mubiri gwa Yobu naye n’amugaana okumutta.

Bizibu ki Yobu bye yagumira, era lwaki ekyo kyasanyusa Katonda?

Sitaani yaleetera Yobu obulwadde obw’amaanyi omubiri gwe gwonna ne gujjula amayute. Gaali gawunya nnyo nga tewali n’omu ayagala kumusemberera. Ne mukazi wa Yobu yamugamba nti: “Weegaane Katonda, ofe!” Abo abaali beeyita mikwano gya Yobu bajja okumulaba era ne bongera okumuleetera obulumi nga bamugamba nti ebintu ebibi bye yali akoze bye byali bimuviiriddeko okufuna ebizibu. Naye, wadde nga Sitaani yaleetera Yobu obulumi n’ebizibu ebyo byonna, Yobu yasigala aweereza Yakuwa n’obwesigwa.​—Yobu 2:1-13; 7:5; 19:13-20.

Olowooza Yakuwa yawulira atya Yobu bwe yakuuma obwesigwa bwe?— Yakuwa yasanyuka nnyo kubanga yali asobola okugamba Sitaani nti: ‘Laba Yobu! Ampeereza kubanga ayagala okukikola.’ Naawe onoobeera nga Yobu, Yakuwa n’akwogerako ng’omuntu omwesigwa alaga nti ebyo Sitaani bye yayogera byali bya bulimba?— Mu butuufu, nkizo y’amaanyi okukiraga nti Sitaani bye yayogera byali bulimba bwe yagamba nti asobola okulemesa buli muntu okuweereza Yakuwa. Ne Yesu ekyo yakitwala ng’enkizo.

Omuyigiriza Omukulu teyakkiriza Sitaani kumuleetera kukola kintu kyonna kikyamu. Lowooza ku ngeri ekyokulabirako kye gye kyasanyusaamu Kitaawe! Yakuwa yali asobola okugamba Sitaani nti: ‘Laba Omwana wange! Akuumye obwesigwa bwe kubanga anjagala!’ Era lowooza ku ssanyu Yesu lye yalina olw’okusanyusa omutima gwa Kitaawe. Olw’essanyu eryo, Yesu yagumira omuti ogw’okubonaabona.​—Abebbulaniya 12:2.

Oyagala okuba ng’Omuyigiriza Omukulu naawe osanyuse Yakuwa?— Bwe kiba bwe kityo, weeyongere okumanya ebyo Yakuwa by’ayagala, era obikole osobole okumusanyusa!

Soma ku ebyo Yesu bye yakola okusobola okusanyusa Katonda era naffe bye twetaaga okukola okusobola okumusanyusa: Engero 23:22-25; Yokaana 5:30; 6:38; 8:28; ne 2 Yokaana 4.