ESSUULA 28
Ani Gwe Tusaanidde Okugondera
OLUUSI kiba kizibu okumanya oyo gwe tusaanidde okugondera. Maama wo oba taata wo ayinza okubaako ky’akugamba okukola. Kyokka omusomesa oba owa poliisi n’akugamba okukola ekintu ekyawukana ku ekyo muzadde wo kye yakugambye. Singa ekyo kibaawo, ani ku bo gwe wandigondedde?—
Mu Ssuula eya 7 ey’ekitabo kino, twasoma Abeefeso 6:1-3. Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti abaana basaanidde okuwulira bazadde baabwe. Kigamba nti, “Mugonderenga bazadde bammwe mu Mukama waffe.” Omanyi kye kitegeeza okubeera “mu Mukama waffe”?— Abazadde abali mu Mukama waffe bayigiriza abaana baabwe okugondera amateeka ga Katonda.
Naye abantu abamu abakulu tebakkiririza mu Yakuwa. N’olwekyo, watya singa omu ku bo akugamba nti si kibi okubba ebigezo oba okutwala ekintu okuva mu dduuka nga tokisasulidde? Naye kiba kirungi omwana okubba ebigezo oba ebintu ebirala?—
Jjukira nti lumu Kabaka Nebukadduneeza yalagira abantu bonna okuvunnamira ekibumbe ekya zzaabu kye yali akoze. Naye Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baagaana okukivunnamira. Omanyi lwaki?— Kubanga Bayibuli egamba nti abantu basaanidde kusinza Yakuwa yekka.—Okuva 20:3; Matayo 4:10.
Nga Yesu amaze okufa, abatume be baaleetebwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu, ng’eno ye yali kkooti enkulu ey’Abayudaaya. Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu yabagamba nti: “Twabalagira obutayigiriza mu linnya [lya Yesu], naye laba! mujjuzza Ebikolwa 5:27-29.
Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe.” Lwaki abatume baagaana okugondera Olukiiko Olukulu?— Peetero, ng’akiikirira abatume bonna, yaddamu Kayaafa nti: “Tuteekwa okugondera Katonda ng’omufuzi okusinga abantu.”—Mu kiseera ekyo, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baalina obuyinza bungi. Naye ensi yaabwe yali efugibwa gavumenti ya Rooma. Omukulembeze wa gavumenti eyo yali ayitibwa Kayisaali. Newakubadde Abayudaaya baali tebaagala kufugibwa Kayisaali, gavumenti ya Rooma yakolera abantu ebintu ebirungi bingi. Ne leero gavumenti zikolera abantu ebintu ebirungi. Omanyi ebimu ku bintu ebyo?—
Gavumenti zikola enguudo, zisasula abazikiza omuliro n’aba poliisi ne basobola okutukuuma. Era zisobola n’okukola enteekateeka ez’okusomesa abaana abato n’okujjanjaba bannamukadde. Gavumenti esaasaanya ssente nnyingi okukola ebintu ebyo. Omanyi gavumenti gy’eggya ssente ezo?— Eziggya mu bantu. Ssente abantu ze basasula gavumenti ziyitibwa musolo.
Omuyigiriza Omukulu we yabeerera ku nsi, Abayudaaya bangi
baali tebaagala kusasula musolo eri gavumenti ya Rooma. Era lumu, bakabona baawa abasajja abamu ssente babuuze Yesu ekibuuzo okusobola okumukwasa. Bamubuuza nti, ‘Tusaanidde okusasula Kayisaali omusolo oba nedda?’ Mu kumubuuza ekibuuzo ekyo baali bamutega. Singa Yesu yaddamu nti, ‘Yee, musaanidde okusasula omusolo,’ Abayudaaya bangi ekyo tekyandibasanyusizza. Naye Yesu yali tasobola kugamba nti, ‘Nedda, temusaanidde kusasula musolo.’ Kyandibadde kikyamu okwogera bw’atyo.Kati olwo, Yesu yakola ki? Yagamba nti: ‘Mundage ekinusu.’ Bwe baakimuleetera, Yesu n’ababuuza nti: ‘Ekifaananyi n’erinnya ebiriko by’ani?’ Abasajja ne bamugamba nti: “Bya Kayisaali.” Awo Yesu n’abagamba nti: “Kale ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”—Lukka 20:19-26.
Ekyo Yesu kye yabaddamu, tewali n’omu yali asobola kukirabamu kikyamu kyonna. Bwe kiba nti Kayisaali akolera abantu ebintu ebirungi, kiba kituukirawo okukozesa ssente za Kayisaali okusasulira
ebyo by’abakolera. N’olwekyo mu kugamba bw’atyo, Yesu yalaga nti kirungi okusasula gavumenti emisolo olw’ebintu by’etukolera.Kati oyinza okuba nga tonnatuusa kusasula musolo. Naye waliwo ekintu ky’osaanidde okuwa gavumenti. Okimanyi?— Okugondera amateeka ga gavumenti. Bayibuli egamba nti: ‘Mugonderenga ab’obuyinza.’ Ab’obuyinza abo be bantu abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu gavumenti. N’olwekyo, Katonda yennyini y’atugamba okugondera amateeka ga gavumenti.—Abaruumi 13:1, 2.
Wayinza okubaawo etteeka erigaana okusuula ebipapula oba kasasiro mu kkubo. Wandigondedde etteeka eryo?— Yee, Katonda ayagala oligondere. Osaanidde okugondera n’aba poliisi?— Gavumenti esasula aba poliisi basobole okukuuma abantu. Bwe tubagondera, tuba tugondera gavumenti.
N’olwekyo, bw’oba ogenda okusala oluguudo naye owa poliisi n’akugamba nti “Lindako okusala!” kiki ky’osaanidde okukola?— Singa abalala basalawo okusala, naawe onookola bw’otyo?— Osaanidde okulindako okusala, ne bwe kiba nti abalala bonna basaze oluguudo. Katonda ayagala obe omuwulize.
Wayinza okubaawo obuzibu mu kitundu owa poliisi n’agamba abantu nti: “Temugenda mu nguudo. Musigale mu nnyumba.” Naye oyinza okuwulira abantu nga bawoggana ne weebuuza ekibaddewo. Onoofuluma mu nnyumba osobole okulaba ekigenda mu maaso?— Onooba ogondedde “ab’obuyinza”?—
Mu bitundu bingi, gavumenti zizimba amasomero, era zisasula n’abasomesa. Olowooza Katonda ayagala ogondere abasomesa?— Kirowoozeeko. Gavumenti esasula aba poliisi okutukuuma era esasula n’abasomesa ne basobola okukusomesa. N’olwekyo, bw’ogondera owa poliisi oba omusomesa, obeera ogondera gavumenti.
Naye watya singa omusomesa akugamba okwenyigira mu kikolwa
eky’okusinza ekifaananyi? Onookola ki?— Abebbulaniya abasatu baagaana okuvunnamira ekifaananyi, wadde nga Kabaka Nebukadduneeza ye yali abagambye. Okyajjukira ensonga lwaki baagaana?— Kubanga baali tebaagala kujeemera Katonda.Munnabyafaayo ayitibwa Will Durant yawandiika ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka n’agamba nti ‘obuwulize bwabwe obusookera ddala tebaabulaganga Kayisaali.’ Wabula, baabulaganga Yakuwa! N’olwekyo kijjukire nti Katonda gwe tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe.
Tugondera gavumenti kubanga ekyo Katonda ky’ayagala tukole. Naye singa batugamba okukola ekintu Katonda kye yatugaana, twandibagambye ki?— Tusaanidde okubagamba ekyo abatume kye baagamba Kabona Asinga Obukulu: “Tuteekwa okugondera Katonda ng’omufuzi okusinga abantu.”—Ebikolwa 5:29.
Bayibuli etukubiriza okussa ekitiibwa mu b’obuyinza. Soma ebyo ebiri mu Matayo 5:41; Tito 3:1; ne 1 Peetero 2:12-14.