Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 18

Ojjukira Okwebaza?

Ojjukira Okwebaza?

WALIDDE emmere olwa leero?— Omanyi eyagifumbye?— Oboolyawo maama wo ye yagifumbye oba omuntu omulala, naye lwaki tusaanidde okwebaza Katonda olw’emmere gye tulya?— Kubanga Katonda y’asobozesa ebimera okukula ne tufuna emmere ey’okulya. Naye era tusaanidde okwebaza n’oyo afumbye emmere oba agituwadde.

Oluusi twerabira okwebaza abo ababa batukoledde ebintu ebirungi, si bwe kiri? Omuyigiriza Omukulu bwe yali ku nsi, waliwo abagenge abamu abeerabira okumwebaza.

Omugenge y’ani?— Omugenge ye muntu alina obulwadde bw’ebigenge. Obulwadde obwo buyinza n’okuleetera omuntu okukutukako ebitundu ebimu eby’omubiri, gamba ng’engalo n’ebigere. Yesu bwe yali ku nsi, abagenge baali tebakkirizibwa kubeera mu bantu balala abataalina bigenge. Era omugenge bwe yalabanga omuntu omulala ng’ajja, yalinanga okwogerera waggulu ng’amulabula aleme okumusemberera. Ekyo kyakolebwanga abantu abalala baleme okukwatibwa obulwadde obwo.

Yesu yasaasiranga nnyo abagenge. Lumu Yesu bwe yali agenda e Yerusaalemi, yalina okuyita mu kabuga akamu. Bwe yali anaatera okutuuka mu kabuga ako, abagenge kkumi bajja okumusisinkana. Baali bawulidde nti Yesu alina amaanyi okuva eri Katonda agamusobozesa okuwonya endwadde eza buli ngeri.

Abagenge tebaasemberera Yesu. Baayimirira wala okuva wali. Naye baali bakkiriza nti Yesu asobola okubawonya ebigenge. N’olwekyo abagenge bwe balaba Omuyigiriza Omukulu, baayogerera waggulu nga bagamba nti: ‘Yesu, Omuyigiriza, tuyambe!’

Osaasira abalwadde?— Yesu yabasaasiranga. Yali amanyi engeri gye kinakuwaza okuba omugenge. N’olwekyo yabagamba nti: “Mugende mwerage eri bakabona.”​—Lukka 17:11-14.

Kiki Yesu ky’agamba abagenge bano okukola?

Lwaki Yesu yabagamba okukola kino? Yabagamba bw’atyo olw’etteeka Yakuwa lye yali awadde abantu be erikwata ku bagenge. Etteeka lino lyali liraga nti Kabona wa Katonda yalinanga okukebera omubiri gw’omugenge. Kabona ye yategeezanga omugenge nti obulwadde bwe buwonye. Bwe yawonanga yaddangamu okubeera n’abantu abalala abatali balwadde.​—Eby’Abaleevi 13:16, 17.

Naye abasajja bano baali bakyalina ebigenge. Kati olwo baagenda eri kabona nga Yesu bwe yali abagambye?— Yee, baagenderawo. Abasajja abo bateekwa okuba nga baali bakkiriza nti Yesu asobola okubawonya ebigenge. Kiki ekyaddirira?

Bwe baali bagenda eri kabona, obulwadde bwabwe bwawona, era emibiri gyabwe ne girongooka. Okukkiriza kwe baalina mu maanyi ga Yesu kwabasobozesa okuwona. Nga bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo! Naye kiki kye bandikoze okulaga nti baali basiimye ekyo Yesu kye yali abakoledde? Kiki kye wandikoze?—

Kiki omugenge ono kye yajjukira okukola?

Omu ku abo abaawonyezebwa yakomawo eri Yesu. Yatandika okugulumiza Yakuwa, n’okumwogerako ebintu ebirungi. Ekyo kye kyali ekintu ekituufu okukola kubanga amaanyi agamuwonya gaava eri Katonda. Omusajja oyo era yafukamira ku bigere by’Omuyigiriza Omukulu n’amwebaza. Yasiima nnyo ekyo Yesu kye yali amukoledde.

Ate abasajja abalala omwenda? Yesu yabuuza nti: ‘Abantu kkumi si be bawonyezeddwa? Kati olwo omwenda bali wa? Omu yekka y’akomyewo okugulumiza Katonda?’

Yee, omusajja omu yekka ku abo ekkumi ye yagulumiza Katonda era ye yakomawo okwebaza Yesu. Omusajja oyo yali Musamaliya ng’ava mu nsi ndala. Abasajja abalala omwenda tebeebaza Katonda era tebeebaza Yesu.​—Lukka 17:15-19.

Olinga ani ku basajja abo? Twagala okubeera ng’omusajja omusamaliya, si bwe kiri?— N’olwekyo, omuntu bw’atukolera ekintu ekirungi, kiki kye tusaanidde okukola?— Tusaanidde okumwebaza. Abantu batera okwerabira okwebaza. Naye kiba kirungi okwebaza. Bwe tukikola, tusanyusa Yakuwa Katonda n’Omwana we Yesu.

Oyinza otya okukoppa omugenge eyakomawo eri Yesu?

Bw’ofumiitiriza, ojja kukiraba nti abantu bakukoledde ebintu ebirungi bingi. Ng’ekyokulabirako, wali obaddeko omulwadde?— Oyinza okuba nga tolwalangako bigenge ng’abasajja abo ekkumi, naye nga wali olwaddeko ssenyiga ow’amaanyi oba ng’olubuto lwali lukulumyeko. Waliwo abantu abaakulabirira?— Bayinza okuba nga baakuwa eddagala era ne bakukolera n’ebintu ebirala ebirungi. Wabeebaza olw’okukuyamba okuwona obulungi?—

Omusajja Omusamaliya yeebaza Yesu olw’okumuwonya, era ekyo kyasanyusa nnyo Yesu. Olowooza taata wo ne maama wo banaasanyuka bw’onoobeebaza nga balina bye bakukoledde?— Yee, bajja kusanyuka.

Lwaki kikulu okwebaza?

Abantu abamu bakukolera ebintu buli lunaku oba buli wiiki. Guyinza okuba ng’ogwo gwe omulimu gwabwe. Bayinza n’okuba nga basanyufu okugukola. Naye oyinza okwerabira okubeebaza. Omusomesa wo ayinza okuba ng’afuba nnyo okukusomesa. Ogwo mulimu gwe. Naye ajja kusanyuka nnyo bw’onoomwebaza olw’okukusomesa.

Oluusi abantu batukolera ebintu ebitonotono. Waliwo omuntu eyakusitulirako ekintu ekizito? Oba waliwo omuntu eyakuweereza emmere ng’ogenda okulya? Kiba kirungi okwebaza omuntu wadde ng’akukoledde ebintu ng’ebyo ebitonotono.

Bwe tuba tujjukira okwebaza abantu abali ku nsi, era tujja kujjukira okwebaza Kitaffe ow’omu ggulu. Ate nga ddala waliwo ebintu bingi nnyo bye tusobola okwebaza Yakuwa! Y’atuwa obulamu era n’ebintu byonna ebirungi ebitusobozesa okunyumirwa obulamu. N’olwekyo, tusaanidde okugulumiza Katonda nga tumwogerako ebintu ebirungi buli lunaku.