Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 16

Kiki Ekisinga Obukulu?

Kiki Ekisinga Obukulu?

Kizibu ki omusajja ono kye yalina?

LUMU, omusajja omu yajja eri Yesu. Yali akimanyi nti Yesu mugezi nnyo, n’olwekyo yamugamba nti: ‘Omuyigiriza, gamba muganda wange ampe ku bintu by’alina.’ Omusajja oyo yali alowooza nti asaanidde okufuna ku bintu bya muganda we.

Singa ggwe wali Yesu, kiki kye wandigambye omusajja oyo?— Yesu yakiraba nti omusajja oyo alina ekizibu. Naye ekizibu kye tekyali nti yali yeetaaga bintu bya muganda we. Ekizibu ky’omusajja oyo kyali nti yali tamanyi ekyo ekisinga obukulu mu bulamu.

Lowooza ku kino. Kiki kye tusaanidde okutwala ng’ekisinga obukulu? Kwe kuba n’ebintu eby’okuzannyisa ebirungi, engoye empya, n’ebintu ebirala ebiringa ebyo?— Nedda, waliwo ekintu ekisinga obukulu. Era ekyo Yesu kye yali ayagala okutuyigiriza. N’olwekyo, yagera olugero olukwata ku musajja eyeerabira Katonda. Wandyagadde okuluwulira?—

Omusajja oyo yali mugagga nnyo. Yalina ennimiro n’amawanika. Ebirime bye yasimba byabala nnyo. Amawanika ge ne gajjula n’aba nga takyalina wa kutereka birime bye yali akungudde. Kati olwo, yakola ki? Yagamba nti: ‘Nja kumenya amawanika gange nzimbe amanene. Era mu mawanika amapya nja kuterekamu ebirime byange byonna eby’empeke n’ebintu byange byonna ebirungi.’

Omusajja oyo omugagga yalowooza nti ekyo kye yali agenda okukola kye kyali eky’amagezi. Yalowooza nti kyali kya magezi okweterekera ebintu ebingi. Yagamba nti: ‘Nneeterekedde ebintu ebirungi bingi. Bijja kummazaako emyaka mingi. Kati nnyinza okuwummula. Nja kulya, nnywe, era nsanyuke.’ Naye endowooza y’omusajja oyo omugagga yali nkyamu. Omanyi lwaki?— Yali yeerowoozaako yekka n’engeri gye yandyesanyusizaamu. Yeerabira Katonda.

Omusajja ono omugagga alowooza ku ki?

N’olwekyo Katonda yagamba omusajja oyo omugagga nti: ‘Musajja ggwe omusirusiru, ogenda kufa ekiro kino. Kale, ani agenda okutwala ebintu by’oterese?’ Omusajja oyo omugagga yandisobodde okukozesa ebintu ebyo ng’afudde?— Nedda, wabula omuntu omulala ye yandibitutte. Yesu yagamba nti: “Bwe kityo bwe kibeera eri omuntu eyeeterekera eby’obugagga naye nga si mugagga mu maaso ga Katonda.”​—Lukka 12:13-21.

Oyagala okubeera ng’omusajja oyo omugagga?— Okufuna ebintu kye kyali ekintu ekikulu mu bulamu bwe. Naye ekyo kyali kikyamu. Buli kiseera yali ayagala okwongera okufuna ebintu ebirala. Kyokka teyali “mugagga mu maaso ga Katonda.”

Abantu bangi balinga omusajja oyo omugagga. Buli kiseera baagala okwongera okufuna ebintu ebirala. Naye kino kisobola okuleeta ebizibu eby’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, olina ebintu by’ozannyisa, si bwe kiri?— Ebimu ku bintu ebyo by’ozannyisa bye biruwa?— Watya singa omu ku mikwano gyo alina omupiira oba ddole oba ekintu ekirala kyonna ky’azannyisa ggwe ky’otalina? Kyandibadde kirungi okupeeka bazadde bo bakikugulire?—

Ekintu ky’ozannyisa kiyinza okulabika ng’eky’omuwendo oba ekirungi. Naye kiki ekiyinza okukituukako oluvannyuma lw’ekiseera?— Kikaddiwa. Kisobola okwonooneka, n’oba nga tokyakyagala. Mu butuufu, olina ekintu eky’omuwendo ennyo ekisinga ebintu by’ozannyisa. Okimanyi?—

Kiki ky’olina eky’omuwendo ennyo okusinga ebintu by’ozannyisa?

Bwe bulamu bwo. Obulamu bwo bwa muwendo nnyo kubanga bw’otaba nabwo tewali ky’oyinza kukola. Naye okusobola okuba omulamu olina okukola katonda by’ayagala, si bwe kiri?— N’olwekyo, tuleme okubeera ng’omusajja oyo omugagga omusirusiru eyeerabira Katonda.

Abaana si be bokka abayinza okukola ebintu ebitali by’amagezi ng’omusajja oyo omugagga. N’abantu abakulu bangi babikola. Abamu ku bo, buli kiseera baagala okwongera okufuna ebintu ebirala. Bayinza okuba nga balina emmere, engoye ez’okwambala, n’aw’okusula. Naye era baba baagala ebirala. Baagala okuba n’engoye nnyingi n’amayumba amanene. Ebintu ebyo byonna bitwala ssente nnyingi. N’olwekyo bakola nnyo okusobola okufuna ssente ezo. Kyokka gye bakoma okufuna ssente, gye bakoma n’okwagala okufuna endala.

Abantu abamu abakulu bakola nnyo okusobola okufuna ssente ne babulwa n’ebiseera eby’okubeerako awamu n’ab’omu maka gaabwe. Era tebaba na biseera bya kuweereza Katonda. Naye ssente zaabwe zisobola okubakuuma ne balema okufa?— Nedda, tezisobola. Ate bwe baba bafudde, basobola okuzikozesa?— Nedda. Kiri kityo, kubanga abafu tebasobola kukola kintu kyonna.​—Omubuulizi 9:5, 10.

Ekyo kitegeeza nti kikyamu okuba n’essente?— Nedda. Tusobola okukozesa ssente okugula emmere n’eby’okwambala. Bayibuli egamba nti ssente ziwa obukuumi. (Omubuulizi 7:12) Naye bwe tuba twagala nnyo ssente, tusobola okufuna ebizibu eby’amaanyi. Tujja kuba ng’omusajja oyo omugagga omusirusiru eyeeterekera eby’obugagga naye nga si mugagga mu maaso ga Katonda.

Kitegeeza ki okuba omugagga mu maaso ga Katonda?— Kitegeeza okusooka okukola ebyo Katonda by’ayagala. Abantu abamu bagamba nti bakkiririza mu Katonda. Balowooza nti okukkiririza mu Katonda kye kyokka ekyetaagisa. Naye ddala abantu abo bagagga mu maaso ga Katonda?— Nedda, balinga omusajja omugagga eyeerabira Katonda.

Yesu teyeerabira Kitaawe ow’omu ggulu. Teyagezaako kunoonya ssente nnyingi. Era teyalina bintu bingi. Yesu yali amanyi bulungi ekisinga obukulu mu bulamu. Ggwe okimanyi?— Kwe kuba omugagga mu maaso ga Katonda.

Biki omwana ono by’akola ebikulu ennyo?

Olowooza, tusobola tutya okuba abagagga mu maaso ga Katonda?— Tusobola okuba abagagga mu maaso ga Katonda nga tukola ebimusanyusa. Yesu yagamba nti: “Bulijjo nkola ebintu ebimusanyusa.” (Yokaana 8:29) Katonda asanyuka nnyo bwe tukola ebyo by’ayagala. Kati bintu ki by’osobola okukola okusobola okusanyusa Katonda?— Yee, osobola okusoma Bayibuli, okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, okusaba Katonda, n’okuyamba abalala okuyiga ebimukwatako. Ebyo bye bintu ebisinga obukulu mu bulamu.

Olw’okuba Yesu yali mugagga mu maaso ga Katonda, Yakuwa yamulabirira. Yakuwa yawa Yesu empeera ey’okubeerawo emirembe gyonna. Bwe tubeera nga Yesu, naffe Yakuwa ajja kutwagala era atulabirire. N’olwekyo, ka tubeere nga Yesu tuleme kubeera ng’omusajja oyo omugagga eyeerabira Katonda.

Bino bye bimu ku byawandiikibwa ebisobola okutuyamba okuba n’endowooza entuufu ku bintu bye tuba nabyo: Engero 23:4; 28:20; 1 Timoseewo 6:6-10; ne Abebbulaniya 13:5.