Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 7

Obuwulize Bukukuuma

Obuwulize Bukukuuma

WANDYAGADDE okuba ng’osobola okukola ekintu kyonna ky’oyagala? Waliwo ekiseera lw’owulira nga toyagala muntu yenna kukugamba kya kukola? Mbuulira bambi ky’olowooza.—

Lwaki osaanidde okuwuliriza abantu abakulu?

Naye kiki ekyandisinze okuba eky’omuganyulo gy’oli? Ddala kyandibadde kya magezi ggwe okukola ekintu kyonna ky’oyagala? Oba kyandibadde kirungi okusingawo singa ogondera taata wo ne maama wo?— Katonda agamba nti osaanidde okugondera bazadde bo, n’olwekyo waliwo ensonga ey’amaanyi lwaki osaanidde okukikola. Ka tulabe obanga tusobola okuteegera ensonga eyo.

Olina emyaka emeka?— Omanyi emyaka taata wo gy’alina?— Maama wo alina emyaka emeka?— Ate jjajja omukazi, oba jjajja omusajja?— Bakulu nnyo okukusinga. Era omuntu gy’akoma okuwangaala, gy’akoma okuyiga ebintu ebingi. Buli mwaka awulira ebintu bingi, alaba ebintu bingi, era akola ebintu bingi. N’olwekyo abaana abato basobola okuyigira ku bantu abakulu.

Waliwo omuntu yenna gw’omanyi gw’osinga obukulu?— Omanyi bingi okumusinga?— Lwaki?— Kubanga omusinga obukulu. Ggwe osobodde okuyiga ebintu bingi okusinga omuntu oyo omuto ku ggwe.

Ani abaddewo okumala emyaka mingi okusinga nze naawe oba omuntu omulala yenna?— Yakuwa Katonda. Amanyi bingi okukusinga, era amanyi bingi okunsinga. Bw’atugamba okukola ekintu kyonna, tuba bakakafu nti ky’aba atugambye kye kituufu okukola, wadde nga kiyinza okutukaluubirira okukola. Obadde okimanyi nti n’Omuyigiriza Omukulu olumu yakisanga nga kizibu okuba omuwulize?—

Lumu, Katonda yagamba Yesu okukola ekintu ekizibu ennyo. Yesu yakyogerako mu kusaba kwe nga bwe tulaba mu kifaananyi kino. Yagamba nti: “Bw’oba oyagala nzigyako ekikopo kino.” Mu kusaba bw’atyo, Yesu yalaga nti tekyabanga kyangu gy’ali buli kiseera okukola Katonda by’ayagala. Naye Yesu yafundikira atya essaala ye? Omanyi engeri gye yagifundikiramu?—

Kiki kye tuyinza okuyigira ku ssaala ya Yesu?

Yesu yafundikira essaala ye ng’agamba nti: “Kye njagala si kye kiba kikolebwa wabula ggwe ky’oyagala.” (Lukka 22:41, 42) Yee, yali ayagala ekyo Katonda ky’ayagala kye kiba kikolebwa so si ye ky’ayagala. Era yakola ekyo Katonda kye yali ayagala mu kifo ky’okukola ekyo ye kye yali alowooza nti kye kirungi.

Kiki kye tusobola okuyigira ku kino?— Tuyiga nti kiba kirungi bulijjo okukola ekyo Katonda ky’atugamba, ne bwe kiba nga si kyangu okukikola. Naye waliwo ekintu ekirala kye tuyiga. Okimanyi?— Tuyiga nti Katonda ne Yesu si be bamu nga abantu abamu bwe bagamba. Yakuwa Katonda abaddewo okumala emyaka mingi era amanyi bingi okusinga Omwana we, Yesu.

Bwe tugondera Katonda, tuba tulaga nti tumwagala. Bayibuli egamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye.” (1 Yokaana 5:3) N’olwekyo, ffenna tusaanidde okugondera Katonda. Ggwe oyagala okumugondera?—

Ka tubikkule Bayibuli tulabe ekyo Katonda ky’ayagala abaana abato bakole. Tugenda kusoma Abeefeso essuula 6, olunyiriri 1, 2, ne 3. Wagamba nti: “Abaana, mugonderenga bazadde bammwe mu Mukama waffe kubanga kino kya butuukirivu: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa’; kye kiragiro ekisooka ekiriko ekisuubizo ekigamba nti: ‘Osobole okubeera obulungi era owangaalenga ku nsi.’”

N’olwekyo, Yakuwa Katonda kennyini y’akugamba okugondera taata wo ne maama wo. Kitegeeza ki ‘okubassaamu ekitiibwa’? Kitegeeza okuba omuwulize gye bali. Era Katonda asuubiza nti singa ogondera bazadde bo, ojja ‘kubeera bulungi.’

Ka nkubuulire ku bantu abamu abaawonawo olw’okubeera abawulize. Abantu bano baaliwo dda nnyo era baali babeera mu kibuga Yerusaalemi. Abantu abasinga obungi mu kibuga ekyo tebaawuliriza Katonda, n’olwekyo Yesu yabalabula nti Katonda yali agenda kuzikiriza ekibuga kyabwe. Era Yesu yababuulira engeri gye bandisobodde okuwonawo singa baali baagala ekituufu. Yabagamba nti: ‘Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa amagye, awo mumanyanga nti okuzikirizibwa kwakyo kunaatera okutuuka. Ekyo kye kiriba ekiseera okuva mu Yerusaalemi ne muddukira mu nsozi.’​—Lukka 21:20-22.

Okugondera ekiragiro kya Yesu kyawonya kitya abantu bano?

Nga Yesu bwe yali agambye, amagye gaalumba Yerusaalemi. Amagye g’Abaruumi gaasiisira okwetooloola Yerusaalemi. Naye olw’ensonga etamanyiddwa, amagye gaagenda. Abantu abasinga obungi baalowooza nti waali tewakyaliwo kabi. Bwe kityo, baasigala mu kibuga. Naye kiki Yesu kye yali abagambye okukola?— Kiki kye wandikoze singa wali obeera mu Yerusaalemi?— Abo abaakkiriza ebigambo bya Yesu baaleka amaka gaabwe ne baddukira mu nsozi ezaali ewala okuva e Yerusaalemi.

Okumala omwaka mulamba, tewali kyatuuka ku Yerusaalemi. Mu mwaka ogw’okubiri, tewali kyabaawo. Ne mu mwaka gw’okusatu, tewali kyabaawo. Abantu abamu bayinza okuba nga baalowooza nti abo abaali badduse mu kibuga baali basiru. Naye mu mwaka ogw’okuna, amagye g’Abaruumi gaakomawo. Era gaddamu okusiisira okwetooloola Yerusaalemi yenna. Kati kyali tekikyasoboka kukivaamu. Ku mulundi guno amagye gaazikiriza ekibuga. Abantu abasinga obungi abaali mu kibuga ekyo baafa, era abaasigalawo baabatwala ne babasiba.

Naye kiki ekyatuuka ku abo abaali bagondedde Yesu?— Tewali kabi kabatuukako. Baali wala nnyo okuva e Yerusaalemi. Eyo ye nsonga lwaki tebaafuna mutawaana gwonna. Baawonawo olw’okuba baali bawulize.

Bw’onoobeera omuwulize, naawe kinaakukuuma n’otafuna kizibu?— Bazadde bo bayinza okukugaana okuzannyira mu luguudo. Lwaki bakugaana?— Kubanga emmotoka esobola okukukoona. Naye olumu oyinza okugamba nti: ‘Tewali mmotoka mu luguudo. Sijja kufuna kabenje. Abaana abalala bazannyira mu luguudo, naye sirabangako n’omu ng’afunye akabenje.’

Lwaki osaanidde okuba omuwulize wadde nga tolaba kabi konna?

N’abantu abasinga obungi abaali mu Yerusaalemi baalowooza nti tebajja kutuukibwako kabi konna. Amagye g’Abaruumi bwe gaamala okugenda, kyalabika ng’awatali kabi konna. Waaliwo n’abalala abaali babeera mu kibuga ekyo. Era nabo baasigalamu. Baalabulwa, naye tebaawuliriza. N’ekyavaamu, baafiirwa obulamu bwabwe.

Ka tulabe ekyokulabirako ekirala. Wali ozannyisizzaako obubiriiti?— Kiyinza okukusanyusa bw’okoleeza akabiriiti n’olaba omuliro. Naye kya kabi okuzannyisa obubiriiti. Ennyumba yonna esobola okuggya era naawe oyinza okufiiramu!

Kijjukire nti tekimala kubeera muwulize biseera bimu na bimu. Naye bw’obeera omuwulize buli kiseera, ekyo kijja kuba kya bukuumi gy’oli. Era ani agamba nti, “Abaana mugonderenga bazadde bammwe”?— Katonda. Agamba bw’atyo kubanga akwagala.

Kati soma ebyawandiikibwa bino ebiraga obukulu bw’okuba omuwulize: Engero 23:22; Omubuulizi 12:13; Isaaya 48:17, 18; ne Abakkolosaayi 3:20.