Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 11

Obuyambi Okuva eri Bamalayika ba Katonda

Obuyambi Okuva eri Bamalayika ba Katonda

ABANTU abamu bagamba nti bakkiriza ekyo kyokka kye balabako. Naye ekyo si kya magezi. Waliwo ebintu bingi nnyo bye tutalabangako na maaso gaffe. Osobola okumbuulirayo kimu?—

Ate empewo gye tussa? Osobola okugiwulira ng’ekufuuwa?— Fuuwa ku mukono gwo. Waliwo ky’owulidde?— Owulidde empewo ng’ekufuuwa, naye tosobola kugiraba, si bwe kiri?—

Twayogedde ku bantu ab’omwoyo be tutasobola kulaba. Twayize nti abamu balungi ate abalala babi. Mbuulira abamu ku bantu abalungi ab’omwoyo be tutasobola kulaba.— Yee, Yakuwa Katonda, Yesu, ne bamalayika abalungi. Waliyo ne bamalayika ababi?— Bayibuli egamba nti gyebali. Mbuulira kye wabayizeeko.—

Tukimanyi nti bamalayika abalungi ne bamalayika ababi batusinga amaanyi. Omuyigiriza Omukulu yali amanyi bingi nnyo ebikwata ku bamalayika. Ekyo kiri kityo kubanga naye yali malayika nga tannazaalibwa ku nsi ng’omwana. Yali abeera ne bamalayika abalala mu ggulu. Era yali amanyi obukadde n’obukadde bwa bamalayika abo. Bamalayika abo bonna balina amannya?—

Twayiga nti emmunyeenye Katonda yazituuma amannya. N’olwekyo tuli bakakafu nti ne bamalayika bonna balina amannya. Era tukimanyi nti basobola okwogera ne bamalayika bannaabwe, kubanga Bayibuli egamba nti waliyo ‘olulimi lwa bamalayika.’ (1 Abakkolinso 13:1) Olowooza bamalayika boogera ku ki? Naffe abali ku nsi batwogerako?—

Tukimanyi nti bamalayika ba Sitaani abayitibwa badayimooni bagezaako okutuleetera okujeemera Yakuwa. N’olwekyo, bateekwa okuba nga boogera ku ngeri gye basobola okukikolamu. Baagala tubeere nga bo naffe Yakuwa atukyawe. Ate bo bamalayika ba Katonda abeesigwa? Olowooza nabo batwogerako?— Yee, batwogerako. Baagala okutuyamba. Ka nkubuulire engeri abamu ku bamalayika ba Katonda gye baayambamu abantu abaali baagala Yakuwa era abaamuweerezanga.

Ng’ekyokulabirako, waliwo omusajja eyali ayitibwa Danyeri eyabeeranga mu Babulooni. Abantu bangi abaali babeera mu Babulooni baali tebaagala Yakuwa. Abantu baateekawo n’etteeka okubonereza omuntu yenna asaba Yakuwa Katonda. Naye Danyeri teyalekera awo kusaba Yakuwa. Omanyi kye baakola Danyeri?—

Yee, abantu ababi baaleetera Danyeri okusuulibwa mu mpuku y’empologoma. Danyeri yali yekka mu mpuku eyo ng’ali n’empologoma ezaali zirumwa enjala. Omanyi ekyaddirira?— Danyeri yagamba nti ‘Katonda yatuma malayika we n’aziba emimwa gy’empologoma.’ Teyatuukibwako kabi konna! N’olwekyo, bamalayika basobola okukolera abaweereza ba Yakuwa ebintu ebyewuunyisa.​—Danyeri 6:18-22.

Kiki Katonda kye yakola okuwonya Danyeri?

Waliwo ekiseera Peetero lwe yasibibwa mu kkomero. Jjukira nti Peetero yali mukwano gw’Omuyigiriza Omukulu, Yesu Kristo. Abantu abamu tekyabasanyusa Peetero bwe yabagamba nti Yesu yali Mwana wa Katonda. Bwe kityo, Peetero baamuteeka mu kkomera. Era abasirikale baali bakuuma Peetero aleme okutoloka. Waliwo omuntu yenna eyandimuyambye?—

Peetero yali yeebase wakati w’abasirikale babiri, era ng’asibiddwa enjegere ku mikono gye. Era Bayibuli egamba nti: ‘Laba! Malayika wa Yakuwa n’ajja, ekitangaala ne kyaka mu kkomera. Malayika n’akwata Peetero mu mbiriizi, n’amuzuukusa, n’amugamba nti: “Situka mangu!”’

Malayika yayamba atya Peetero okuva mu kkomera?

Awo enjegere ne zisumulukuka ku mikono gya Peetero ne zigwa! Malayika n’amugamba nti: ‘Yambala engoye zo n’engatto zo ongoberere.’ Abasirikale baali tebasobola kubalemesa kubanga malayika ye yali ayamba Peetero. Bwe baatuuka ku luggi olw’ekyuma, waliwo ekintu ekyewuunyisa ekyabaawo. Oluggi lweggulawo lwokka! Malayika oyo yaggya Peetero mu kkomera asobole okweyongera okubuulira.​—Ebikolwa 12:3-11.

Bamalayika ba Katonda naffe basobola okutuyamba?— Yee, basobola. Kino kitegeeza nti batuziyiza ne tutatuukibwako kabi?— Nedda, bwe tukola ebintu ebibi, bamalayika tebaziyiza kabi kututuukako. Naye era ne bwe tuba tetukoze bintu bibi, tusobola okutuukibwako akabi. Bamalayika tebalagirwa kutukuuma butatuukibwako kabi. Wabula, Katonda yabawa omulimu ogw’enjawulo ogw’okukola.

Bayibuli eyogera ku malayika alangirira eri abantu bonna nti basinze Katonda. (Okubikkulirwa 14:6, 7) Ekyo malayika akikola atya? Olowooza ayogerera mu bbanga mu ddoboozi erya waggulu abantu bonna bawulire?— Nedda, abagoberezi ba Yesu abali ku nsi be boogera n’abantu ebikwata ku Katonda, era bamalayika babawa obulagirizi nga bakola omulimu ogwo. Bamalayika bakakasa nti abo abaagala okumanya ebikwata ku Katonda bafuna omukisa okubiwulira. Tusobola okwenyigira mu mulimu ogwo ogw’okubuulira era bamalayika bajja kutuyamba.

Naye kiba kitya singa abantu abatayagala Katonda batuyigganya? Watya singa batusiba mu kkomera? Bamalayika banaatuggyayo?— Basobola. Naye ekyo tebakikola buli kiseera.

Kiki malayika ky’agamba Pawulo?

Pawulo, omugoberezi wa Yesu, naye yaliko omusibe. Lumu yali mu lyato ng’omuyaga ogw’amaanyi ennyo gukunta. Naye bamalayika tebaamuyambirawo. Kino kyali kityo kubanga waaliwo abantu abalala abaali beetaaga okuwulira ebikwata ku Katonda. Malayika yagamba nti: “Totya Pawulo. Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali.” Yee, Pawulo yali alina okutwalibwa eri Kayisaali, omukulembeze w’eggwanga, asobole okumubuulira. Bamalayika baamanyanga buli wamu Pawulo we yagendanga era baamuyambanga. Naffe bajja kutuyamba bwe tuweereza Katonda.​—Ebikolwa 27:23-25.

Waliwo omulimu omulala omukulu ennyo bamalayika gwe bajja okukola. Ekiseera kiri kumpi okutuuka Katonda azikkirize abantu ababi bonna. Abo bonna abatasinza Katonda ow’amazima bajja kuzikirizibwa. Abo abagamba nti tebakkiririza mu bamalayika olw’okuba tebasobola kubalaba bajja kukitegeera nti baali bakyamu.​—2 Abassessalonika 1:6-8.

Ekyo kitukwatako kitya?— Bwe tuba ku ludda lwa bamalayika ba Katonda, bajja kutuyamba. Naye tuli ku ludda lwabwe?— Tuba ku ludda lwabwe singa tuba tuweereza Yakuwa. Era bwe tuba tuweereza Yakuwa, tujja kukubiriza n’abalala okumuweereza.

Okusobola okumanya ebisingawo ku ngeri bamalayika gye bayambamu abantu, soma Zabbuli 34:7; Matayo 4:11; 18:10; Lukka 22:43; ne Ebikolwa 8:26-31.