Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 37

Okujjukira Yakuwa n’Omwana We

Okujjukira Yakuwa n’Omwana We

KUBA akafaananyi ng’omuntu akuwadde ekirabo eky’omuwendo ennyo. Wandiwulidde otya?— Wandigambye bugambi nti weebale ne weerabira akikuwadde? Oba wandimujjukidde era n’ojjukira n’ekyo ky’akukoledde?—

Yakuwa Katonda yatuwa ekirabo eky’omuwendo ennyo. Yatuma Omwana we ku nsi atufiirire. Omanyi ensonga lwaki Yesu yalina okutufiirira?— Ensonga eyo nkulu nnyo era tusaanidde okugitegeera.

Nga bwe twayiga mu Ssuula eya 23, Adamu yayonoona bwe yamenya eteeka lya Katonda. Era twasikira ekibi kya Adamu, eyali kitaffe. Kati olowooza twali twetaaga ki?— Twali twetaaga kitaffe omulala eyandisigadde ng’atuukiridde obulamu bwe bwonna ku nsi. Olowooza ani eyandisobodde okubeera kitaffe ng’oyo?— Yesu.

Yakuwa yatuma Yesu ku nsi abeere kitaffe mu kifo kya Adamu. Bayibuli egamba nti: “‘Adamu omuntu eyasooka yafuuka omuntu omulamu.’ Adamu ow’oluvannyuma yafuuka omwoyo oguwa obulamu.” Adamu eyasooka y’ani?— Y’oyo Katonda gwe yatonda okuva mu nfuufu y’ensi. Ate Adamu ow’okubiri y’ani?— Ye Yesu. Kino Bayibuli ekiraga bulungi bw’egamba nti: “Omuntu eyasooka [Adamu] yava mu nsi era yakolebwa mu nfuufu; omuntu ow’okubiri [Yesu] yava mu ggulu.”​1 Abakkolinso 15:45, 47; Olubereberye 2:7.

Okuva bwe kiri nti Katonda yaggya obulamu bwa Yesu mu ggulu n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu, Yesu teyasikira kibi kya Adamu. Eyo y’ensonga lwaki Yesu yali muntu atuukiridde. (Lukka 1:30-35) Era eyo y’ensonga lwaki malayika yagamba abasumba nga Yesu azaaliddwa nti: ‘Leero Omulokozi, azaaliddwa.’ (Lukka 2:11) Naye Yesu okusobola okuba Omulokozi waffe, kiki ekyali kyetaagisa?— Yalina okukula n’afuuka omuntu omukulu nga Adamu. Awo Yesu yali asobola okufuuka ‘Adamu ow’okubiri.’

Yesu, Omulokozi waffe, era ajja kufuuka “Kitaffe ataggwaawo.” Bw’atyo bw’ayitibwa mu Bayibuli. (Isaaya 9:6, 7) Mu butuufu, Yesu omusajja eyali atuukiridde asobola okuba kitaffe mu kifo kya Adamu eyafuuka atatuukiridde olw’okwonoona. Bwe kityo, ‘Adamu ow’okubiri’ tusobola okumutwala nga kitaffe. Kya lwatu Yesu Mwana wa Yakuwa Katonda.

Mu ngeri ki Adamu ne Yesu gye baali bafaanaganamu, era lwaki ekyo kyali kikulu nnyo?

Bwe tumanya ebikwata ku Yesu, tusobola okumukkiriza ng’Omulokozi waffe. Olowooza twetaaga kulokolebwa kuva mu ki?— Yee, twetaaga okulokolebwa okuva mu kibi n’okufa bye twasikira okuva ku Adamu. Obulamu obutuukiridde Yesu bwe yawaayo ku lwaffe buyitibwa ekinunulo. Yakuwa yawaayo ekinunulo tusobole okusonyiyibwa ebibi byaffe.​—Matayo 20:28; Abaruumi 5:8; 6:23.

Mu butuufu, tusaanidde okujjukiranga ekyo Katonda n’Omwana we kye baatukolera, si bwe kiri?— Yesu yalaga abagoberezi be engeri ey’enjawulo ey’okujjukiramu ekyo kye yakola. Ka tugyogereko.

Kuba akafaananyi ng’oli mu nnyumba mu kisenge ekya waggulu e Yerusaalemi. Budde bwa kiro. Yesu n’abatume be batudde okwetooloola emmeeza. Ku mmeeza kuliko ennyama y’endiga enjokye, emigaati, n’enviinyo. Bali ku kijjulo eky’enjawulo. Omanyi lwaki?—

Ekijjulo kino kibajjukiza ekyo Yakuwa kye yakola emyaka mingi nnyo emabega, abantu be, Abaisiraeri, bwe baali abaddu mu Misiri. Mu kiseera ekyo Yakuwa yagamba abantu be nti: ‘Buli maka gatte endiga era gateeke omusaayi gwayo ku myango gy’ennyumba.’ Oluvannyuma yagamba nti: ‘Muyingire mu nnyumba zammwe, mulye ennyama y’endiga.’

Omusaayi gw’endiga gwawonya gutya Abaisiraeri?

Ekyo Abaisiraeri baakikola. Era mu kiro ekyo, Malayika wa Katonda yayita mu nsi y’e Misiri. Malayika yatta abaana ababereberye mu nnyumba ezisinga obungi. Naye ennyumba malayika gye yalabako omusaayi gw’endiga, yagiyitako buyisi. Mu nnyumba ezo, tewali mwana n’omu yafa. Ekyo Malayika wa Yakuwa kye yakola kyatiisa nnyo Falaawo, kabaka w’e Misiri. N’olwekyo, Falaawo yagamba Abaisiraeri nti: ‘Muli ba ddembe okugenda. Muve mu Misiri!’ Amangu ago, baatikka ebintu ku endogoyi n’eŋŋamira zaabwe ne bagenda.

Yakuwa yali tayagala bantu be beerabire engeri gye yabanunulamu. N’olwekyo yabagamba nti: ‘Omulundi gumu mu mwaka munaalyanga ekijjulo nga kino kye mulidde ekiro kya leero.’ Ekijjulo kino eky’enjawulo baakiyita Embaga ey’Okuyitako. Omanyi lwaki?— Kubanga ekiro ekyo, malayika wa Yakuwa ‘yayita’ ku nnyumba ezaali zisiigiddwako omusaayi.​—Okuva 12:1-13, 24-27, 31.

Yesu n’abatume be baali balowooza ku nsonga eyo bwe baali balya Embaga ey’Okuyitako. Oluvannyuma lw’ekijjulo ekyo, Yesu yakola ekintu ekikulu ennyo. Naye nga tannaba kukikola, yasooka kugoba Yuda, omutume ataali mwesigwa. Oluvannyuma, Yesu yatoola ogumu ku migaati egyali gifiseewo, n’agusabira, n’agumenyamu, n’aguwa abayigirizwa be ng’agamba nti: “Mukwate mulye.” Oluvannyuma yabagamba nti: ‘Omugaati guno gukiikirira omubiri gwange gwenaawaayo nga mbafiirira.’

Oluvannyuma lw’ekyo, Yesu yakwata ekikopo ky’envinnyo. Ng’amaze okusaba omulundi ogw’okubiri, yakibawa n’abagamba nti: “Munyweko mwenna.” Era n’abagamba nti: ‘Envinnyo eno ekiikirira omusaayi gwange. Ŋŋenda okuyiwa omusaayi gwange okubanunula mu bibi byammwe. Kino mukikolenga olw’okunzijjukiranga.’​—Matayo 26:26-28; 1 Abakkolinso 11:23-26.

Omusaayi gwa Yesu, gwe yageraageranya ku nvinnyo, guyinza kutukolera ki?

Okyetegerezza nti Yesu yagamba abayigirizwa be okukolanga kino olw’okumujjukiranga?— Tebandizzeemu kukwata Mbaga ey’Okuyitako. Wabula omulundi gumu buli mwaka bandibaddenga n’ekijjulo kino eky’enjawulo okusobola okujjukira Yesu n’okufa kwe. Ekijjulo kino kiyitibwa Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Leero tukiyita Ekijjukizo. Lwaki?— Kubanga kitujjukiza ekyo Yesu ne Kitaawe, Yakuwa Katonda kye baatukolera.

Omugaati gutujjukiza omubiri gwa Yesu. Yali mwetegefu okuwaayo omubiri gwe tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Ate envinnyo emmyufu?— Etujjukiza nti omusaayi gwa Yesu gwa muwendo nnyo. Omusaayi gwe gwa muwendo nnyo okusinga n’omusaayi gw’endiga eyattibwa e Misiri ku lunaku olw’Okuyitako. Omanyi lwaki?— Bayibuli egamba nti omusaayi gwa Yesu gutusobozesa okusonyiyibwa ebibi byaffe. Era ebibi byaffe byonna bwe binaaba nga biggiddwawo, tujja kuba nga tetukyalwala, tetukyakaddiwa era nga tetukyaffa. Ekyo tusaanidde okukirowoozaako nga tuli ku mukolo gw’Ekijjukizo.

Buli omu abaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo asaanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo?— Yesu yagamba abo abalyako n’abanywako nti: ‘Mujja kuba mu bwakabaka bwange, era mujja kutuula wamu nange ku ntebe ez’obwakabaka mu ggulu.’ (Lukka 22:19, 20, 30) Kino kyali kitegeeza nti bandigenze mu ggulu ne bafugira wamu ne Yesu nga bakabaka. N’olwekyo, abo bokka abalina essuubi ery’okufugira wamu ne Yesu mu ggulu be basaanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo.

Kyokka, n’abo abatalya ku mugaati oba abatanywa ku nvinnyo basaanidde okubaawo ku Kijjukizo. Omanyi lwaki?— Kubanga ffenna Yesu yatufiirira. Bwe tugenda ku mukolo gw’Ekijjukizo, tuba tulaga nti tujjukira ekirabo eky’omuwendo ennyo Katonda kye yatuwa.

Bino bye bimu ku Byawandiikibwa ebiraga obukulu bw’ekinunulo kya Yesu: 1 Abakkolinso 5:7; Abeefeso 1:7; 1 Timoseewo 2:5, 6; ne 1 Peetero 1:18, 19.