Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 30

Ekituyamba Okuggwaamu Okutya

Ekituyamba Okuggwaamu Okutya

KIKWANGUYIRA okuweereza Yakuwa?— Omuyigiriza Omukulu teyagamba nti kyandibadde kyangu okuweereza Yakuwa. Mu kiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa, yagamba abatume be nti: “Ensi bw’ebakyawanga, mumanye nti yasooka kukyawa nze nga tennabakyawa.”​—Yokaana 15:18.

Peetero yeewaana nti tayinza kwabulira Yesu, naye Yesu yamugamba nti yandimweganye emirundi esatu mu kiro ekyo. Era ekyo kyennyini Peetero kye yakola! (Matayo 26:31-35, 69-75) Ekyo kyasoboka kitya okubaawo?— Kyabaawo kubanga Peetero n’abatume abalala baatya nnyo.

Omanyi lwaki abatume baatya?— Baali balemereddwa okukola ekintu ekikulu nnyo. Ekyo bwe tukitegeera, kisobola okutuyamba okuweereza Yakuwa, ka kibe ki omuntu yenna ky’ayinza okwogera oba okutukola. Kyokka, ka tusooke twetegereze ebyo ebyaliwo mu kiro Yesu kye yasembayo okubeera n’abatume be.

Okusooka, baakwatira wamu Embaga ey’Okuyitako. Kino kyali kijjulo eky’enjawulo ekyabangawo buli mwaka okujjukiza abantu ba Katonda engeri gye baanunulibwamu okuva mu buddu e Misiri. Nga bamaze okulya ekijjulo ekyo, Yesu yatandikawo ekijjulo ekirala eky’enjawulo ng’ali wamu n’abatume be. Ekijjulo ekyo tujja kukyogerako mu ssuula ey’omu maaso era tujja kulaba engeri gye kituyambamu okujjukira Yesu. Oluvannyuma lw’ekijjulo ekyo era n’okuzzaamu abatume be amaanyi, Yesu yabatwala mu nnimiro y’e Gesusemane gye baateranga okugenda.

Nga batuuse mu nnimiro eyo, Yesu yeeyongerako mu maaso okuva we baali n’agenda okusaba. Era yagamba Peetero, Yakobo, ne Yokaana okusaba. Naye bo beebaka bwebasi. Yesu yagenda okusaba emirundi esatu era yakomawo emirundi esatu n’asanga Peetero ne banne nga beebase! (Matayo 26:36-47) Omanyi lwaki kyali kibeetaagisa okusigala nga batunula basobole okusaba?— Ka tukyogereko.

Lwaki Peetero, Yakobo, ne Yokaana baali basaanidde okusigala nga batunula?

Akawungeezi ako Yuda Isukalyoti yali wamu ne Yesu n’abatume abalala ku Mbaga ey’Okuyitako. Oyinza okuba ng’okyakijjukira nti Yuda yali afuuse mubbi. Kati ate yali agenda kulyamu Yesu olukwe. Yali amanyi bulungi ekifo ekyali mu nnimiro y’e Gesusemane Yesu gye yateranga okugenda n’abatume be. N’olwekyo, Yuda yatwalayo abasirikale basobole okukwata Yesu. Bwe baatuukayo, Yesu yababuuza nti: “Munoonya ani?”

Abasirikale bamuddamu nti: “Yesu.” Yesu teyabatya era yabaddamu nti: “Ye nze.” Abasirikale beewuunya nnyo obuvumu Yesu bwe yayoleka era badda emabega ne bagwa wansi. Awo Yesu n’abagamba nti: ‘Bwe muba nga munoonya nze, abatume bange mubaleke bagende.’​—Yokaana 18:1-9.

Abasirikale bwe baakwata Yesu ne bamusiba, abatume baatya nnyo ne badduka. Naye Peetero ne Yokaana baali baagala okumanya ekyali kigenda okutuuka ku Yesu, n’olwekyo baagenda bamugoberera nga bamwesuddeko akabanga. Oluvannyuma, Yesu baamutwala mu nnyumba ya Kayaafa eyali kabona asinga obukulu. Olw’okuba Yokaana yali amanyiddwa kabona asinga obukulu, omuggazi w’oluggi yamukkiriza ye ne Peetero okuyingira mu luggya.

Bakabona baali bamaze okujja mu maka ga Kayaafa okuwozesa Yesu. Baali baagala Yesu attibwe. N’olwekyo, baaleeta abantu bawe obujulizi obw’obulimba ku Yesu. Abantu baakuba Yesu ebikonde n’empi. Bino byonna byaliwo nga Peetero ali kumpi awo.

Omuwala omuweereza omuggazi w’oluggi, eyali akkirizza Peetero ne Yokaana okuyingira, yalaba Peetero. Yamugamba nti, “Naawe obadde ne Yesu!” Naye Peetero yagamba nti tamanyi Yesu. Nga wayiseewo akaseera katono, omuwala omulala yalaba Peetero n’agamba abaali bayimiridde awo nti: “Omusajja ono yabadde ne Yesu.” Naye era Peetero yamwegaana. Oluvannyuma lw’akaseera, abantu abaali awo baalaba Peetero ne bamugamba nti: “Mazima ddala oli omu ku bo.” Peetero yeegaana Yesu omulundi ogw’okusatu ng’agamba nti: “Omuntu oyo simumanyi!” Peetero yalayira n’okulayira nti ayogera mazima, Yesu n’akyuka n’amutunuulira.​—Matayo 26:57-75; Lukka 22:54-62; Yokaana 18:15-27.

Lwaki Peetero yatya nnyo n’atuuka n’okwegaana Yesu?

Omanyi lwaki Peetero yalimba?— Yee, kubanga yatya. Naye lwaki yatya? Kiki kye yali alemereddwa okukola ekyandimusobozesezza okuba omuvumu? Kirowoozeeko. Kiki Yesu kye yali akoze okusobola okufuna obuvumu?— Yali asabye Katonda, era Katonda yamuyamba okuba omuvumu. Era jjukira nti Yesu yali agambye Peetero emirundi esatu okusaba, okusigala ng’atunula era n’okuba obulindaala. Naye kiki ekyali kibaddewo?—

Buli mulundi, Peetero yasangibwa yeebase. Teyasaba Katonda era teyasigala ng’atunula. N’olwekyo Yesu okugenda okukwatibwa, Peetero yasangibwa si mwetegefu. Oluvannyuma Peetero yatya nnyo bwe baali nga bawozesa Yesu, nga bamukuba, era nga bateesa engeri y’okumutta. Naye kiki Yesu kye yali agambye abatume be akaseera katono emabega?— Yesu yali abagambye nti ensi yandibakyaye nga naye bwe yamukyawa.

Oyinza otya okwesanga mu mbeera efaananako eya Peetero?

Kati ka tulowooze ku ekyo ekiyinza okututuukako ekifaananako ekyo ekyatuuka ku Peetero. Watya ng’obadde mu kibiina abayizi abalala ne batandika okwogera obubi ku bantu abatakubira bendera saluti oba abatakuza Ssekukkulu. Kati singa wabaawo akubuuza nti: “Kituufu tokubira bendera saluti?” Oba singa abalala bakugamba nti: “Tuwulira nti tokuza na Ssekukkulu!” Onootya okwogera amazima?— Onookemebwa okulimba nga Peetero bwe yakola?

Oluvannyuma, Peetero yanakuwala nnyo olw’okwegaana Yesu. Era bwe yategeera ekyo kye yali akoze, yafuluma ebweru n’akaaba. Yee, yeenenya. (Lukka 22:32) Kati kirowoozeeko. Kiki ekiyinza okutuyamba obutatya nnyo ne tutuuka n’okulimba nga Peetero?— Jjukira nti Peetero yalemererwa okusaba n’okuba obulindaala. Kati olwo, olowooza kiki kye tulina okukola okusobola okuba abagoberezi b’Omuyigiriza Omukulu?—

Kya lwatu, tulina okusaba Yakuwa atuyambe. Yesu bwe yasaba, omanyi Katonda kye yamukolera?— Yatuma malayika n’amuzzaamu amaanyi. (Lukka 22:43) Bamalayika ba Katonda naffe basobola okutuyamba?— Bayibuli egamba nti: ‘Malayika wa Yakuwa asiisira okwetooloola abo abamutya, n’abalokola.’ (Zabbuli 34:7) Naye okusobola okufuna obuyambi bwa Katonda tetusaanidde kukoma ku kusaba busabi. Omanyi ekirala kye tulina okukola?— Yesu yagamba abagoberezi be okusigala nga batunula era nga bali bulindaala. Olowooza ekyo tuyinza kukikola tutya?—

Tulina okuwuliriza obulungi nga tuli mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo era n’okussaayo omwoyo ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli. Naye era tulina okusaba Yakuwa obutayosa era n’okumusaba atuyambe tusobole okumuweereza. Ekyo bwe tunaakikola, tujja kusobola okuggwaamu okutya. Era tujja kusanyuka nnyo bwe tunaafuna akakisa okubuulira abalala ebikwata ku Muyigiriza Omukulu ne Kitaawe.

Ebyawandiikibwa bino bisobola okutuyamba okutya abantu ne kutatulemesa kukola kituufu: Engero 29:25; Yeremiya 26:12-15, 20-24; ne Yokaana 12:42, 43.