Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 21

Waliwo Ekintu Kyonna Ekyandituleetedde Okwewaana

Waliwo Ekintu Kyonna Ekyandituleetedde Okwewaana

KITEGEEZA ki okwewaana?— Lowooza ku kyokulabirako kino. Wali ogezezzaako okukola ekintu ky’otamanyi bulungi? Oboolyawo wali osamba mupiira. Oba oyinza okuba nga wali obuuka muguwa. Waliwo eyakusekerera n’akugamba nti, “Ekyo nkusinga okukikola obulungi”?— Omuntu oyo yali yeewaana.

Oyisibwa otya abalala bwe bakwewaanirako? Kikusanyusa?— Kati olowooza abalala bayisibwa batya bw’obeewaanirako?— Kiba kirungi okugamba omuntu nti, “Nkusinga”?— Yakuwa ayagala abantu abeewaana?—

Omuyigiriza Omukulu yali amanyi abantu abaali balowooza nti basinga abalala. Beewaananga era banyoomanga abantu abalala. N’olwekyo, Yesu yabagerera olugero okubalaga nti kyali kikyamu okwewaanira ku balala. Ka tulwetegereze.

Olugero olwo lukwata ku Mufalisaayo n’omusajja eyali asolooza omusolo. Abafalisaayo baayigirizanga ebikwata ku ddiini, era beetwalanga okuba abatuukirivu okusinga abantu abalala. Omufalisaayo ayogerwako mu lugero lwa Yesu yagenda mu yeekaalu ya Katonda e Yerusaalemi okusaba.

Lwaki Katonda yasanyukira omusolooza w’omusolo kyokka n’atasanyukira Mufalisaayo?

Yesu yagamba nti n’omusolooza w’omusolo yagenda mu yeekaalu okusaba. Abantu abasinga obungi baali tebaagala abo abaasoloozanga omusolo. Baalowoozanga nti abasolooza b’omusolo baali bababba. Era kituufu nti bangi ku abo abaasoloozanga omusolo tebaali beesigwa.

Omufalisaayo bwe yali mu yeekaalu, yasaba ng’agamba nti: ‘Ai Katonda, nkwebaza olw’okuba siri mwonoonyi ng’abantu abalala. Sibba bantu era sikola bintu birala bibi. Siri ng’oyo asolooza omusolo. Ndi musajja mutuukirivu. Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki nsobole okufuna ebiseera bingi eby’okukulowoozaako. Era mpaayo ekimu eky’ekkumi mu yeekaalu ku bintu byonna bye nfuna.’ Mu butuufu, Omufalisaayo yali alowooza nti mutuukirivu okusinga abantu abalala, si bwe kiri?— Era ekyo yakigamba ne Katonda.

Kyokka omusolooza w’omusolo teyali ng’Omufalisaayo. Teyayimusa na maaso ge kutunula waggulu ng’asaba. Yayimirira walako ng’akutamizza ku mutwe gwe. Omusolooza w’omusolo yanakuwalira nnyo ebibi bye era yeekuba mu kifuba olw’ennaku ey’amaanyi gye yalina. Teyagamba Katonda nti ye mutuukirivu. Wabula yagamba nti: “Ai Katonda, nsaasira nze omwonoonyi.”

Olowooza ani ku basajja bano ababiri eyasanyusa Katonda? Omufalisaayo eyali eyeetwala nti mutuukirivu nnyo oba omusolooza w’omusolo eyanakuwalira ebibi bye?—

Yesu yagamba nti omusolooza w’omusolo ye yasanyusa Katonda. Lwaki? Kubanga yagamba nti: ‘Buli eyeetwala okuba nti asinga abalala alitoowazibwa. Naye oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.’—Lukka 18:9-14.

Yesu yali ayigiriza ki mu lugero luno?— Yali ayigiriza nti kikyamu okulowooza nti tusinga abalala. Tuyinza obutakyogera nti tubasinga, naye engeri gye tweyisaamu eyinza okukiraga. Wali weeyisizzaako mu ngeri eraga nti osinga abalala?— Ka tulabe Peetero kye yakola.

Yesu bwe yagamba abatume be nti bandimwabulidde ng’akwatiddwa, Peetero yeewaana ng’agamba nti: ‘Abalala bonna ne bwe banaakuleka, nze sijja kukuleka!’ Naye Peetero yali mukyamu. Yali yeekakasa ekisukkiridde. Yaleka Yesu. Kyokka, oluvannyuma yeenenya nga bwe tujja okuyiga mu Ssuula 30 ey’ekitabo kino.​—Matayo 26:31-33.

Lowooza ku kino ekiyinza okubaawo. Ka tugambe nti ggwe ne muyizi munno bababuuza ebibuuzo ku ssomero. Watya nga ggwe osobola okubiddamu amangu, kyokka nga muyizi munno tasobola? Kyo kituufu nti kikusanyusa nnyo bw’oba omanyi eby’okuddamu. Naye kiba kirungi okwegeraageranya ne muyizi munno alwawo okuddamu?— Kiba kirungi okwetwala nti oli mugezi okusinga muyizi munno?—

Ekyo Omufalisaayo kye yakola. Yeewaana nti mutuukirivu okusinga omusolooza w’omusolo. Naye Omuyigiriza Omukulu yagamba nti Omufalisaayo yali mukyamu. Kituufu nti omuntu ayinza okuba ng’asobola okukola ekintu obulungi okusinga omuntu omulala. Naye ekyo tekitegeeza nti ddala aba amusinga.

Bw’oba ng’omanyi bingi okusinga abalala, kitegeeza nti oli mugezi okubasinga?

Kati olwo, bwe tuba tumanyi bingi okusinga omuntu omulala, ekyo kyandituleetedde okwewaana?— Olowooza otya? Ffe twekolera obwongo?— Nedda, Katonda ye yawa buli omu obwongo. Era ebintu ebisinga obungi bye tumanyi, waliwo eyabituyigiriza. Oboolyawo twabisoma mu bitabo. Oba wayinza okuba nga waliwo eyabitubuulira. Ne bwe kiba ng’ekintu ffe tukyekoledde, olowooza kiki ekiba kitusobozesezza okukikola?— Yee, tuba tukozesezza obwongo Katonda bwe yatuwa.

Omuntu bw’aba ng’alina ky’afuba okukola, kiba kirungi okumugamba ebigambo ebimuzzaamu amaanyi. Mugambe nti ekyo ky’akola kikusanyusiza. Oboolyawo oyinza n’okumuyambako okukikola obulungi. Ekyo naawe kye wandyagadde abantu okukukolera, si bwe kiri?—

Lwaki si kirungi okwewaana nti olina amaanyi okusinga omuntu omulala?

Abantu abamu balina amaanyi okusinga abalala. Watya ng’olina amaanyi okusinga muganda wo oba mwannyoko? Ekyo kyandikuleetedde okwewaana?— Nedda. Emmere gye tulya y’etuyamba okuba n’amaanyi. Era Katonda y’atuwa omusana, enkuba, n’ebintu byonna ebiyamba emmere eyo okukula obulungi, si bwe kiri?— N’olwekyo, Katonda gwe tusaanidde okwebaza olw’amaanyi ge tulina.​—Ebikolwa 14:16, 17.

Tewali n’omu ku ffe ayagala okuwulira omuntu omulala nga yeewaana, waali?— Ka tulowooze ku bigambo bya Yesu bino: “Nga bwe mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo.” Bwe tukolera ku bigambo bya Yesu ebyo, tetujja kuba ng’Omufalisaayo eyeewaana, ayogerwako mu lugero lw’Omuyigiriza Omukulu.—Lukka 6:31.

Lumu, omuntu bwe yayita Yesu omuyigiriza omulungi, Omuyigiriza Omukulu yagamba nti, ‘Yee, ndi mulungi’?— Nedda, si bwe yagamba. Naye yaddamu nti: “Teri mulungi, okuggyako Katonda.” (Makko 10:18) Newakubadde Omuyigiriza Omukulu yali atuukiridde, teyeewaana. Ettendo lyonna yaliwa Kitaawe, Yakuwa.

Kati olwo, waliwo omuntu yenna gwe tusobola okwenyumiririzaamu?— Yee, waali. Tusobola okwenyumiririza mu Mutonzi waffe, Yakuwa Katonda. Bwe tulaba enjuba ng’egwa oba ekintu ekirala ekyewuunyisa ku ebyo bye yatonda, tuyinza okugamba omuntu nti, ‘Katonda waffe omulungi ennyo Yakuwa, ye yatonda ekintu ekyo!’ Ka bulijjo tube beetegefu okwogera ku bintu eby’ekitalo Yakuwa bye yakola n’ebyo by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso.

Kiki omulenzi ono kye yeenyumiririzaamu?

Soma ebyawandiikibwa bino omanye kye byogera ku kwewaana, era olabe n’engeri gy’oyinza okwewalamu okwewaana: Engero 16:5, 18; Yeremiya 9:23, 24; 1 Abakkolinso 4:7; ne 13:4.