Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 11

Baawandiika Ebikwata ku Yesu

Baawandiika Ebikwata ku Yesu

Olaba abasajja abali mu kifaananyi?— Amannya gaabwe ge gano: Matayo, Makko, Lukka, Yokaana, Peetero, Yakobo, Yuda, ne Pawulo. Abasajja abo bonna baaliwo mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi, era baawandiika ebimukwatako. Ka tulabe ebibakwatako.

Kiki ky’omanyi ku basajja bano?

Basatu ku basajja abo baali batume ba Yesu era baabuuliranga naye. Omanyi amannya gaabwe?— Matayo, Yokaana, ne Peetero. Omutume Matayo n’omutume Yokaana baali bamanyi bulungi Yesu, era buli omu ku bo yawandiika ekitabo ekimwogerako. Omutume Yokaana yawandiika n’ekitabo ekiyitibwa Okubikkulirwa, era n’ebbaluwa ssatu eziyitibwa, Yokaana Ekisooka, Yokaana eky’Okubiri, ne Yokaana eky’Okusatu. Omutume Peetero yawandiika ebbaluwa bbiri eziyitibwa Peetero Ekisooka, ne Peetero eky’Okubiri. Mu bbaluwa ye ey’okubiri Peetero yawandiika ku kiseera Yakuwa lwe yayogera ku Yesu nti: ‘Ono ye mwana wange. Mmwagala nnyo, era ansanyusa.’

Abasajja abalala abali mu kifaananyi nabo baawandiika ebikwata ku Yesu. Omu ku bo ye Makko. Kirabika yaliwo nga Yesu akwatibwa era yalaba byonna ebyaliwo. Omulala ye Lukka. Ono yali musawo era kirabika yafuuka Omukristaayo oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu.

Abawandiisi ba Bayibuli abalala ababiri b’olaba awo mu kifaananyi baali baganda ba Yesu. Omanyi amannya gaabwe?— Omu ye Yakobo ate omulala ye Yuda. Mu kusooka baali tebakkiririza mu Yesu. Baalowooza n’okulowooza nti yali agudde eddalu. Naye oluvannyuma baamukkiririzaamu era ne bafuuka Bakristaayo.

Omuwandiisi wa Bayibuli omulala gw’olaba mu kifaananyi ye Pawulo. Bwe yali tannafuuka Mukristaayo, yali ayitibwa Sawulo. Yali tayagalira ddala Bakristaayo era yalinga abayigganya. Omanyi engeri Pawulo gye yafuukamu Omukristaayo?— Lumu Pawulo bwe yali mu kkubo ng’aliko gy’agenda, yawulira omuntu ayogera naye okuva mu ggulu. Omuntu oyo yali Yesu. Yabuuza Pawulo nti: ‘Lwaki oyigganya abagoberezi bange?’ Ekyo nga kimaze okubaawo, Pawulo yafuuka Omukristaayo. Pawulo yawandiika ebitabo bya Bayibuli 14, okuva ku Abaruumi okutuuka ku Abebbulaniya.

Buli lunaku tusoma Bayibuli, si bwe kiri?— Bwe tusoma Bayibuli, tuyiga ebintu bingi nnyo ebikwata ku Yesu. Wandyagadde okumanya ebisingawo ku Yesu?—