Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 6

Dawudi Yali Tatya

Dawudi Yali Tatya

Kiki ky’okola nga waliwo ekintu ekikutiisizza?— Oboolyawo oddukira ewa maama wo oba ewa taata wo. Naye waliwo omulala asobola okukuyamba. Wa maanyi okusinga omuntu omulala yenna. Omumanyi?— Ye Yakuwa Katonda. Ka twogere ku mulenzi omu omuto ayogerwako mu Bayibuli ayitibwa Dawudi. Olw’okuba yali akimanyi nti Yakuwa yalinga asobola okumuyamba, yali tatya.

Bazadde ba Dawudi baamuyigiriza okwagala Yakuwa okuviira ddala mu buto bwe. Eno ye nsonga lwaki Dawudi yalinga tatya ne bwe yayolekagananga n’ebintu ebitiisa ennyo. Yali akimanyi nti Yakuwa yali mukwano gwe era nti yandimuyambye. Lumu Dawudi bwe yali alunda endiga, empologoma yajja n’egezaako okutwala endiga. Omanyi Dawudi kye yakola? Yagigoba n’agitta. Era n’eddubu bwe lyali litwala endiga, nalyo yalitta. Olowooza ani yayamba Dawudi?— Yakuwa.

Waliwo omulundi omulala Dawudi lwe yalaga obuvumu obw’amaanyi ennyo. Abayisirayiri baali balwana n’abantu abaali bayitibwa Abafirisuuti. Omu ku basirikale Abafirisuuti yali musajja munene nnyo era nga muwanvu nnyo! Yali ayitibwa Goliyaasi. Omusajja oyo yanyoomoola abalwanyi ba Isirayiri era n’anyoomoola ne Yakuwa. Goliyaasi yagamba nti bwe wabaawo Omuyisirayiri eyeewulira amaanyi ajje balwane. Naye Abayisirayiri bonna baatya okulwana naye. Kyokka Dawudi bwe yakiwulira yagamba Goliyaasi nti: ‘Nze nja kukulwanyisa! Yakuwa ajja kunnyamba, era nja kukuwangula!’ Tolaba nti Dawudi yali muvumu?— Yali muvumu nnyo. Oyagala okumanya ebyaddirira?

Dawudi yakwata envuumuulo ye n’amayinja ataano n’agenda okulwana ne Goliyaasi. Goliyaasi bwe yalaba nti Dawudi yali mulenzi bulenzi, n’atandika okumujerega. Naye Dawudi yamugamba nti: ‘Ojja gye ndi n’ekitala, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Yakuwa!’ Dawudi yateeka ejjinja mu nvuumuulo n’adduka ng’agenda eri Goliyaasi, n’alikasuka ne limukuba wakati mu kyenyi! Omusajja oyo eyali omunene ennyo era nga muwanvu nnyo yagwa wansi n’afa! Abafirisuuti baatya nnyo era bonna ne badduka. Ani yayamba Dawudi, omulenzi omuto, okutta omusajja eyali omunene ennyo era nga muwanvu nnyo?— Yakuwa ye yamuyamba. Yakuwa yali wa maanyi nnyo okusinga omusajja oyo!

Dawudi teyatya kubanga yali akimanyi nti Yakuwa yandimuyambye

Kiki ky’oyiga mu ebyo bye tusoma ku Dawudi?— Yakuwa wa maanyi nnyo okusinga omuntu omulala yenna, era asobola okuba mukwano gwo. N’olwekyo bwe wabangawo ekintu kyonna ekikutiisa, jjukira nti Yakuwa asobola okukuyamba n’oba muvumu!