Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 12

Omwana wa Mwannyina wa Pawulo Yali Muvumu

Omwana wa Mwannyina wa Pawulo Yali Muvumu

Ka tulabe ebikwata ku muvubuka omu eyawonya kojja we okuttibwa. Kojja w’omuvubuka oyo ye yali omutume Pawulo. Amannya g’omuvubuka oyo tetugamanyi, naye tumanyi nti yakola ekintu ekyali kyetaagisa obuvumu. Wandyagadde okumanya kye yakola?—

Pawulo yali mu kkomera e Yerusaalemi. Yali asibiddwa olw’okubuulira abantu ebikwata ku Yesu. Waaliwo abasajja ababi abaali batayagala Pawulo, era baakola olukwe okumutta. Baagamba nti: ‘Ka tusabe omukulu w’abasirikale alagire abasirikale baleete Pawulo mu kkooti. Tujja kwekweka okumpi n’oluguudo, era bwe banaaba bayisaawo Pawulo tujja kuvaayo tumutte!’

Omwana wa mwannyina wa Pawulo ng’abuulira Pawulo n’omukulu w’abasirikale olukwe olwali lukoleddwa

Omwana wa mwannyina wa Pawulo yawulira abasajja abo nga bakola olukwe olwo. Kiki kye yakola? Yagenda mu kkomera n’abuulirako Pawulo. Pawulo olwali okukiwulira, n’amugamba agende akibuulire omukulu w’abasirikale. Olowooza kyali kyangu omuvubuka oyo okugenda okwogera n’omukulu w’abasirikale?— Tekyali kyangu, kubanga omukulu w’abasirikale yali muntu wa kitiibwa nnyo. Naye omuvubuka oyo yali muvumu era yayogera n’omukulu w’abasirikale.

Omukulu w’abasirikale yasala amagezi okuwonya Pawulo. Yalagira abasirikale 500 bamukuume! Yabagamba bamutwale e Kayisaliya ekiro ekyo. Pawulo yawona okuttibwa?— Yee; abasajja ababi tebaasobola kumukolako kabi! Olukwe lwabwe terwayitamu.

Ebyo bye tusoma ku muvubuka oyo bikuyigiriza ki?— Naawe osobola okuba omuvumu ng’omuvubuka oyo. Tulina okuba abavumu nga tubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa. Onooba muvumu ne weeyongera okwogera ebikwata ku Yakuwa?— Bw’onookola bw’otyo, oyinza okuwonya obulamu bw’abalala.