Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 10

Yesu Yali Muwulize Nnyo

Yesu Yali Muwulize Nnyo

Kikwanguyira bulijjo okugondera bazadde bo?— Ebiseera ebimu tekiba kyangu. Obadde okimanyi nti Yesu yagonderanga Yakuwa ne bazadde be?— Ekyokulabirako kye kisobola okukuyamba okuba omuwulize eri bazadde bo wadde ng’oluusi kiyinza obutakubeerera kyangu. Ka tulabe ebisingawo ku nsonga eno.

Yesu bwe yali tannajja ku nsi, yali abeera mu ggulu ne Kitaawe, Yakuwa. Naye ne wano ku nsi Yesu yalinawo abazadde. Abazadde abo, ye Yusufu ne Maliyamu. Omanyi engeri gye baafuukamu bazadde be?—

Yesu okusobola okuzaalibwa ku nsi, Yakuwa yaggya obulamu bwe mu ggulu n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu. Kino kyali kyamagero! Yesu yakulira mu lubuto lwa Maliyamu ng’abaana abalala bonna bwe bakulira mu mbuto za bamaama baabwe. Oluvannyuma lw’emyezi nga mwenda, Yesu yazaalibwa. Eyo ye ngeri Maliyamu ne bbaawe Yusufu gye baafuukamu bazadde ba Yesu ab’oku nsi.

Yesu bwe yali nga wa myaka 12, yakola ekintu ekyalaga nti yali ayagala nnyo Kitaawe, Yakuwa. Kino kyaliwo nga Yesu ne bazadde be, ne baganda be bagenze e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako. Bwe baali baddayo eka, Yusufu ne Maliyamu baagenda okulaba nga Yesu talabikako. Omanyi wa gye yali?—

Lwaki Yesu yali mu yeekaalu?

Yusufu ne Maliyamu baddayo mangu e Yerusaalemi ne banoonya Yesu. Beeraliikirira nnyo kubanga baamunoonya buli wamu naye nga tebamulaba. Kyokka oluvannyuma lw’ennaku ssatu, baamusanga mu yeekaalu! Omanyi ensonga lwaki Yesu yali mu yeekaalu?— Kubanga yali ayagala okuyiga ebikwata ku Kitaawe, Yakuwa. Yali ayagala nnyo Yakuwa era yali ayagala okumanya engeri gye yali ayinza okumusanyusa. Yesu ne bwe yali ng’akuze, yagonderanga Yakuwa. Yesu yalinga muwulize ne bwe yabanga agambiddwa okukola ekintu ekitali kyangu oba ekyali kiyinza n’okumuviirako okubonaabona. Yesu yagonderanga ne Yusufu ne Maliyamu?— Bayibuli eraga nti yabagonderanga.

Kiki ky’oyigira ku Yesu?— Oteekwa okugondera bazadde bo, wadde ng’ebiseera ebimu kiyinza obutakubeerera kyangu. Bw’otyo bw’onookola?—