EBYONGEREZEDDWAKO A
Amazima Ge Twagala Okuyigiriza Abantu
Yesu yagamba nti abantu ab’emitima emirungi bwe bawulira amazima bagategeera. (Yok. 10:4, 27) N’olwekyo, buli lwe twogera n’abantu tusaanidde okubaako ekintu kye tubabuulira okuva mu Bayibuli. Osobola okutandika okubuulira omuntu ekintu ekimu okuva mu Bayibuli ng’ogamba nti: “Obadde okimanyi nti . . . ?” oba “Wali owuliddeko nti . . . ?” Oluvannyuma osobola okukozesa ekyawandiikibwa oba ebyawandiikibwa okumunnyonnyola. Bw’obaako ekintu ky’obuulira omuntu okuva mu Bayibuli, oba osize ensigo ey’amazima mu mutima gwe, era Katonda asobola okugikuza!—1 Kol. 3:6, 7.
EBISEERA EBY’OMU MAASO
-
1. Ebintu ebiriwo mu nsi n’engeri abantu gye beeyisaamu biraga nti wanaatera okubaawo enkyukakyuka ey’amaanyi.—Mat. 24:3, 7, 8; Luk. 21:10, 11; 2 Tim. 3:1-5.
-
2. Ensi tejja kusaanawo.—Zab. 104:5; Mub. 1:4.
-
3. Ensi ejja kufuuka ekifo ekirabika obulungi ennyo.—Is. 35:1, 2; Kub. 11:18.
-
4. Buli muntu ajja kuba mulamu bulungi.—Is. 33:24; 35:5, 6.
-
5. Osobola okuba omulamu emirembe gyonna ku nsi.—Zab. 37:29; Mat. 5:5.
AMAKA
-
6. Omusajja “agwanidde okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala kennyini.”—Bef. 5:33; Bak. 3:19.
-
7. Omukazi asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.—Bef. 5:33; Bak. 3:18.
-
8. Omwami n’omukyala buli omu asaanidde okuba omwesigwa eri munne.—Mal. 2:16; Mat. 19:4-6, 9; Beb. 13:4.
-
9. Abaana abassaamu bazadde baabwe ekitiibwa era ababagondera bajja kufuna emikisa mingi.—Nge. 1:8, 9; Bef. 6:1-3.
KATONDA
-
10. Katonda alina erinnya.—Zab. 83:18; Yer. 10:10.
-
11. Katonda ayogera naffe.—2 Tim. 3:16, 17; 2 Peet. 1:20, 21.
-
12. Katonda mwenkanya.—Ma. 10:17; Bik. 10:34, 35.
-
13. Katonda ayagala okutuyamba.—Zab. 46:1; 145:18, 19.
OKUSABA
-
14. Katonda ayagala tumusabe.—Zab. 62:8; 65:2; 1 Peet. 5:7.
-
15. Bayibuli etuyigiriza engeri gye tusaanidde okusabamu.—Mat. 6:7-13; Luk. 11:1-4.
-
16. Tusaanidde okusaba emirundi mingi.—Mat. 7:7, 8; 1 Bas. 5:17.
YESU
-
17. Yesu yali ayigiriza bulungi nnyo era amagezi ge yawa gakola ekiseera kyonna.—Mat. 6:14, 15, 34; 7:12.
-
18. Yesu yayogera ku bintu ebiriwo leero.—Mat. 24:3, 7, 8, 14; Luk. 21:10, 11.
-
19. Yesu Mwana wa Katonda.—Mat. 16:16; Yok. 3:16; 1 Yok. 4:15.
-
20. Yesu si ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.—Yok. 14:28; 1 Kol. 11:3.
OBWAKABAKA BWA KATONDA
-
21. Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala eri mu ggulu.—Dan. 2:44; 7:13, 14; Mat. 6:9, 10; Kub. 11:15.
-
22. Obwakabaka bwa Katonda bujja kudda mu kifo kya gavumenti z’abantu.—Zab. 2:7-9; Dan. 2:44.
-
23. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalirawo ddala ebizibu by’abantu.—Zab. 37:10, 11; 46:9; Is. 65:21-23.
OKUBONAABONA
-
24. Katonda si y’atuleetera okubonaabona.—Ma. 32:4; Yak. 1:13.
-
25. Sitaani y’afuga ensi.—Luk. 4:5, 6; 1 Yok. 5:19.
-
26. Katonda alaba okubonaabona kw’oyitamu era ayagala okukuyamba.—Zab. 34:17-19; Is. 41:10, 13.
-
27. Katonda anaatera okumalawo okubonaabona.—Is. 65:17; Kub. 21:3, 4.
OKUFA
-
28. Abafu tebaaliko kye bamanyi; tebali mu kubonaabona.—Mub. 9:5; Yok. 11:11-14.
-
29. Abafu tebasobola kutuyamba oba okututuusaako akabi.—Zab. 146:4; Mub. 9:6, 10.
-
30. Abafu bajja kuzuukira.—Yob. 14:13-15; Yok. 5:28, 29; Bik. 24:15.
-
31. “Okufa tekulibaawo nate.”—Kub. 21:3, 4; Is. 25:8.
AMADIINI
-
32. Si buli ddiini nti esanyusa Katonda.—Yer. 7:11; Mat. 7:13, 14, 21-23.
-
33. Katonda akyawa obunnanfuusi.—Is. 29:13; Mi. 3:11; Mak. 7:6-8.
-
34. Okwagala okwa nnamaddala kwawulawo eddiini ey’amazima.—Mi. 4:3; Yok. 13:34, 35.