OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU
ESSOMO 2
Yogera mu Ngeri eya Bulijjo
Omusingi: “Ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu nga kiba kirungi!”—Nge. 15:23.
Ekyo Firipo Kye Yakola
1. Laba VIDIYO, oba soma Ebikolwa 8:30, 31, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:
Kiki Kye Tuyigira ku Firipo?
2. Bwe tutandika okunyumya n’abantu mu ngeri eya bulijjo, kibayamba okusigala nga bakkakkamu era n’okuba abeetegefu okukubaganya naffe ebirowoozo ku ekyo kye tuba twogerako.
Koppa Firipo
3. Weetegereze. Endabika y’omuntu ey’oku maaso era n’ekyo ebitundu bye ebirala eby’omubiri kye byoleka, erina kinene ky’eraga ku muntu oyo. Omuntu alabika nga mwetegefu okunyumya naawe? Oyinza okubaako ky’omubuulira okuva mu Bayibuli ng’omubuuza nti, “Obadde okimanyi nti . . . ?” Togezaako kukaka omuntu okwogera naawe bw’aba nga tayagala.
4. Ba mugumiikiriza. Tokitwala nti olina okutandikirawo okubuulira omuntu Bayibuli ky’egamba. Linda ekiseera ekituufu ng’osobola okukwataganya obulungi ekyo kye mwogerako n’ekyo Bayibuli ky’egamba. Emirundi egimu kino kiyinza okukwetaagisa okulindako okutuusa lw’onoddamu okufuna akakisa akalala okunyumyako naye.
5. Ba mwetegefu okukyusaamu. Omuntu ayinza okukyusa emboozi n’agizza ku nsonga endala gy’obadde tosuubira. N’olwekyo beera mwetegefu okubaako ky’omubuulira ekikwatagana n’ensonga eyo, ka kibe nti ggwe obadde na nsonga ndala mu Bayibuli gy’obadde oyagala okwogerako naye.