OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU
ESSOMO 6
Totya Kubuulira
Omusingi: “Katonda waffe yatusobozesa okuba abavumu ne tubabuulira amawulire . . . amalungi.”—1 Bas. 2:2.
Ekyo Yesu Kye Yakola
1. Laba VIDIYO, oba soma Lukka 19:1-7, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:
Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?
2. Twetaaga okuba abavumu okusobola okubuulira abantu aba buli ngeri amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka.
Koppa Yesu
3. Weesige Yakuwa. Omwoyo omutukuvu gwayamba Yesu okubuulira amawulire amalungi, naawe gusobola okukuyamba. (Mat. 10:19, 20; Luk. 4:18) Saba Yakuwa akuyambe okuba omuvumu osobole okubuulira abo b’otya okubuulira.—Bik. 4:29.
4. Tosalira bantu musango. Oyinza okutya okubuulira abantu abamu olw’endabika yaabwe, olw’okuba bagagga nnyo, olw’engeri gye batambuzaamu obulamu bwabwe, oba olw’eddiini yaabwe. Naye kijjukire nti:
5. Yogera nga weekakasa naye ng’ossaamu abalala ekitiibwa. (Mat. 10:16) Weewale okuwakana n’abantu. Komya emboozi mu ngeri ey’obukkakkamu omuntu bw’aba ng’ayagala kuwakana buwakanyi oba ng’owulira nti oyinza okutuusibwako obulabe.—Nge. 17:14.