WEEYONGERE OKUYAMBA ABANTU
ESSOMO 7
Tokoowa Kubayamba
Omusingi: “Beeyongera okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi . . . awatali kuddirira.”—Bik. 5:42.
Ekyo Pawulo Kye Yakola
1. Laba VIDIYO, oba soma Ebikolwa 19:8-10, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:
Kiki Kye Tuyigira ku Pawulo?
2. Kitwetaagisa okuwaayo ebiseera era n’okufuba okusobola okuddayo eri abantu ababa baagala okumanya ebisingawo era n’okutandika okubayigiriza Bayibuli.
Koppa Pawulo
3. Ba mwetegefu okukyalira omuntu mu kiseera ekimwanguyira. Weebuuze: ‘Kiseera ki lwe kiyinza okuba ekirungi okumutuukirira? Ddi na wa we kijja okumwanguyira okwogerako nange?’ Ba mwetegefu okuddayo okwogerako naye ne bwe kiba nti kiyinza obutaba kyangu gy’oli okuddayo mu kiseera ky’ayagala.
4. Kola enteekateeka ne gw’oyogedde naye. Buli luvannyuma lw’okwogerako n’omuntu, gezaako okumanya ekiseera ekituufu lw’oyinza okuddamu okwogerako naye. Kakasa nti oddayo gy’ali nga bwe muba mulagaanye.
5. Beera n’endowooza ennuŋŋamu. Toyanguwa kulowooza nti omuntu atatera kubeera waka oba atera okuba n’eby’okukola ebingi, aba tayagala kuwuliriza bubaka bwaffe. (1 Kol. 13:4, 7) Weeyongere okufuba okwogera n’omuntu oyo, naye kozesa bulungi ebiseera byo.—1 Kol. 9:26.