Agusito 1-7
ZABBULI 87-91
Oluyimba 49 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Sigala mu Kifo eky’Ekyama eky’Oyo Asingayo Okuba Waggulu”: (Ddak. 10)
Zb 91:1, 2
—‘Ekifo kya Yakuwa eky’ekyama’ kituwa obukuumi mu by’omwoyo (w10 2/15 27 ¶10-11) Zb 91:3
—Okufaananako omutezi w’ebinyonyi, Sitaani agezaako okutukwasa (w07 10/1 28-32 ¶1-18) Zb 91:9-14
—Yakuwa kye kiddukiro kyaffe (w10 1/15 10-11 ¶13-14; w01 12/1 17-18 ¶13-19)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Zb 89:34-37
—Ndagaano ki eyogerwako mu nnyiriri zino, era kyakulabirako ki Yakuwa kye yakozesa okulaga nti erina okutuukirira? (w14 10/15 10 ¶14; w07-E 7/15 32 ¶3-4) Zb 90:10, 12
—Tuyinza tutya ‘okubala ennaku zaffe tusobole okufuna omutima ogw’amagezi’? (w06 9/1 11 ¶4; w01 12/1 11 ¶19) Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Zb 90:1-17
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa, era oluvannyuma lwa buli vidiyo, mukubaganye ebirowoozo. Kubiriza ababuulizi okutegeka ennyanjula ezaabwe.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 141
Ebyetaago by’ekibiina: (Ddak. 5)
“Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyamba Abayizi ba Bayibuli Okukulaakulana Okutuuka ku Kwewaayo n’Okubatizibwa”: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Ng’okozesa ebibuuzo ebiweereddwa wano, buuza omubuulizi eyayamba omuntu okukulaakulana n’atuuka okwewaayo n’okubatizibwa. Mubuuze: Wayamba otya omuyizi wo okwagala Yakuwa? Wayamba otya omuyizi wo okutuuka ku biruubirirwa eby’omwoyo?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) ia sul. 21 ¶1-12
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 137 n’Okusaba