OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyamba Abayizi ba Bayibuli Okukulaakulana Okutuuka ku Kwewaayo n’Okubatizibwa
LWAKI KIKULU: Abayizi ba Bayibuli bwe baba ab’okusiimibwa Yakuwa, balina okwewaayo gy’ali era ne babatizibwa. (1Pe 3:21) Abo abatuukiriza obweyamo bwe baakola nga beewaayo eri Yakuwa bafuna obukuumi obw’eby’omwoyo. (Zb 91:1, 2) Omuntu bwe yeewaayo, aba yeewaddeyo eri Yakuwa, so si eri omuntu, omulimu, oba ekibiina. N’olwekyo, abayizi ba Bayibuli baba balina okukulaakulanya okwagala kwe balina eri Yakuwa, era n’okusiima ebyo Yakuwa by’abakolera.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Bw’oba oyigiriza omuyizi wo, muyambe okulaba ebyo by’ayiga kye bimuyigiriza ku Yakuwa. Mukubirize okusoma Bayibuli buli lunaku n’okusaba Yakuwa “obutayosa.”
—1Se 5:17; Yak 4:8 -
Kubiriza omuyizi wo okweteerawo ekiruubirirwa eky’okwewaayo n’okubatizibwa. Ate era muyambe okutuuka ku biruubirirwa ebisookerwako, gamba ng’okuddamu mu nkuŋŋaana n’okubuulira baliraanwa be n’abo b’akola nabo. Kijjukire nti Yakuwa takaka muntu yenna kumuweereza. Buli omu alina okwesalirawo okwewaayo eri Yakuwa.
—Ma 30:19, 20 -
Kubiriza omuyizi wo okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okusanyusa Yakuwa n’okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. (Zb 27:11) Olw’okuba omuyizi wo ayinza okuba ng’alina emize egyasimba amakanda, kiyinza okukwetaagisa okweyongera okumuyamba asobole okweyambulako omuntu omukadde n’okwambala omuntu omuggya. (Bef 4:22-24) Mukubirize okusomanga ebitundu “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu,” ebifulumira mu Munaala gw’Omukuumi.
-
Mubuulire ku ssanyu ly’ofuna mu kuweereza Yakuwa.
—Is 48:17, 18