Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kaweefube ow’Okugaba Omunaala gw’Omukuumi mu Ssebutemba

Kaweefube ow’Okugaba Omunaala gw’Omukuumi mu Ssebutemba

Abantu okwetooloola ensi yonna beetaaga okubudaabudibwa. (Mub 4:1) Mu Ssebutemba tujja kuba ne kaweefube ow’okuga magazini y’Omunaala gw’Omukuumi, erimu obubaka obubudaabuda. Fuba okugaba magazini eno. Kyokka olw’okuba twagala kwogera n’abantu butereevu tusobole okubabudaabuda, tetusaanidde kuleka magazini mu maka we tutasanze bantu.

BY’OYINZA OKWOGERA

“Ffenna oluusi twetaaga okubudaabudibwa. Naye, ani ayinza okutubudaabuda? [Soma 2 Abakkolinso 1:3, 4.] Akatabo kano koogera ku ngeri Katonda gy’atubudaabudamu.”

Omuntu bw’asiima era n’atwala magazini, . . .

MULAGE VIDIYO, LWAKI KIKULU OKUYIGA BAYIBULI?

Oluvannyuma mulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli.

LEKAWO KYE MUNAAYOGERAKO NG’OZZEEYO

Mubuuze ekibuuzo ky’onoddamu ng’ozzeeyo, gamba nga “Lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona?”