OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yigiriza Amazima
Okutandika ne Ssebutemba, akatabo Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe kajja kubangamu ekitundu ekigamba nti, “Yigiriza Amazima.” Ekitundu ekyo kijja kubangamu ennyanjula ez’okukozesa mu buweereza. Ekigendererwa ky’ennyanjula ezo kwe kutuyamba okubuulira abantu amazima agasookerwako nga tukozesa ekibuuzo n’ekyawandiikibwa.
Omuntu bw’anaabanga asiimye obubaka bwaffe, tujja kumulekeranga eky’okusoma oba okumulaga vidiyo. Tusaanidde okufuba okumuddira oluvannyuma lw’ennaku ntono tweyongera okukubaganya naye ebirowoozo. Ennyanjula zino empya n’emboozi ez’okuweebwanga abayizi bijja kuggibwanga mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?, mu kitundu ekiri ku nkomerero ya buli ssuula ekirina omutwe ogugamba nti, “Bye Tuyize.” Ekitundu ekyo kirimu ebibuuzo ebirala n’ebyawandiikibwa bye tusobola okukozesa nga tuzzeeyo eri omuntu oba bye tusobola okukozesa okuyigiriza omuntu nga tukozesa Bayibuli yokka.
Waliwo ekkubo limu lyokka erituusa mu bulamu. (Mat 7:13, 14) Okuva bwe kiri nti twogera n’abantu ab’amadiini ag’enjawulo n’embeera ez’enjawulo, buli omu tusaaanidde okumubuulira ekyo ekinaamusikiriza. (1Ti 2:4) Gye tunaakoma okutegeera ebiri mu Bayibuli n’okukuguka mu kuyigiriza “ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu,” gye tujja okukoma okufuna essanyu n’okuyamba abantu okuyiga amazima.