Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
ZUUKUKA!
Ekibuuzo: Olowooza omuntu ayinza atya okwemanyiiza okukola ebintu ebimuganyula?
Ekyawandiikibwa: Mub 7:8a
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kalimu amagezi agava mu Bayibuli agasobola okuyamba omuntu okweggyamu emize emibi ne yeemanyiiza okukola ebintu ebimuganyula.
ZUUKUKA!
Ekibuuzo: Enkyukakyuka mu bulamu tezeewalika. Olowooza kiki kye tuyinza okukola nga wazzeewo enkyukakyuka mu bulamu bwaffe?
kyawandiikibwa: Mub 7:10
By’oyinza okwogera: [Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.] Ekitundu kino kirimu amagezi agava mu Bayibuli agasobola okutuyamba nga wazzeewo enkyukakyuka mu bulamu bwaffe.
WULIRIZA KATONDA OBE MULAMU EMIREMBE GYONNA
Ekibuuzo: Ffenna tulina amannya. Olowooza ne Katonda alina erinnya? Erinnya lye y’ani?
Ekyawandiikibwa: Zb 83:18
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kalimu ebintu ebirala bingi Bayibuli by’eyigiriza ku Katonda. [Mulage ebiri ku lupapula 6 ne 7.]
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.