OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Agusito 2018
Bye Tuyinza Okwogerako
Eby’okwogerako ebikwata ku miganyulo egiri mu kugoberera amagezi agali mu Bayibuli.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Kirage nti Osiima
Abo abaagala okusanyusa Kristo balina okwagala abantu bonna, ka babe ba ggwanga ki oba ba ddiini ki.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Mujjukire Mukazi wa Lutti
Kiki ekiyinza okutuyamba obutafiirwa nkolagana yaffe ne Yakuwa nga mukazi wa Lutti? Naye twandikoze ki singa tukizuula nti tumalira obudde bungi ku kunoonya eby’obugagga mu kifo ky’okufaayo ku by’omwoyo?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yigira ku Lugero Olukwata ku Mina Ekkumi
Mu lugero lwa Yesu olwa mina ekkumi, mukama w’abaddu, abaddu, ne ssente bikiikirira ki?
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukozesa JW.ORG
Obutabo bwonna bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli buliko endagiriro y’omukutu gwaffe. Bwe tukozesa obulungi omukutu gwaffe, kijja kutuyamba okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
‘Okununulibwa Kwammwe Kunaatera Okutuuka’
Yesu anaatera okujja azikirize ababi era anunule abeesigwa. Tusaanidde okweteekateeka mu by’omwoyo tusobole okuwonawo.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Beera Mwetegefu Okusonyiwa Abalala
Yakuwa n’Omwana we bakebera omutima gw’omuntu okulaba obanga waliwo kye basobola okusinziirako okumusonyiwa.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ne Muganda Wo Yesu Yamufiirira
Yesu yawaayo obulamu bwe ku lw’abantu abatatuukiridde. Baganda baffe ne bannyinaffe abatatuukiridde nga ffe, tuyinza tutya okubalaga okwagala nga Yesu kwe yatulaga?