Yigira ku Lugero Olukwata ku Mina Ekkumi
Ebyogerwako mu lugero luno bikiikirira ki?
-
Omusajja eyawa abaddu ssente akiikirira Yesu
-
Abaddu bakiikirira abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta
-
Ssente omusajja ze yawa abaddu zikiikirira enkizo ey’okufuula abantu abayigirizwa
Olugero luno lulaga ekisobola okubaawo singa Abakristaayo abaafukibwako amafuta batandika okweyisa ng’omuddu omubi. Yesu asuubira abayigirizwa be okukozesa obulungi ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe, n’ebintu byabwe, okufuula abantu abayigirizwa.
Nnyinza ntya okukoppa Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa?