OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukozesa JW.ORG
LWAKI KIKULU?: Obutabo bwonna bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli buliko endagiriro y’omukutu gwaffe. Ekigendererwa ekikulu ekya kaadi eragirira abantu ku jw.org, ne tulakiti Wa We Tusobola Okufuna eby’Okuddamu mu Bibuuzo Ebikulu Ennyo mu Bulamu?, kwe kuyamba abantu okumanya omukutu gwaffe. Osobola okukozesa jw.org okuweereza omuntu akatabo ku e-mail ye, oba okumuweereza link ye kennyini n’agenda ku mukutu gwaffe n’akafuna; naddala ng’osanze omuntu ayogera olulimi olulala. Ate era, osobola okukozesa omukutu gwaffe okuddamu ekibuuzo kye bakubuuzizza nga tekiddibwamu mu butabo bwe tukozesa nga tuyigiriza abantu Bayibuli. Bwe tukozesa obulungi omukutu gwaffe, kijja kutuyamba okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Okukozesa ekitundu, “ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI.” Tugambe nti obuulira omuzadde ayagala okumanya ebisingawo ku ngeri y’okukuzaamu abaana. Genda ku ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > OBUFUMBO N’AMAKA.
-
Okukozesa ekitundu, “EBITABO.” Tugambe nti obuulira mbagirawo ku ssomero era ng’oyagala okubaako by’obuulira muyizi munno okuva mu brocuwa, Ebibuuzo 10 Abavubuka Bye Beebuuza Biddibwamu. Genda ku EBITABO > EBITABO N’OBUTABO EBINNYONNYOLA BAYIBULI.
-
Okukozesa ekitundu, “EBITUKWATAKO.” Ka tugambe nti obuulira mukozi munno eyandyagadde okumanya ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Genda ku EBITUKWATAKO.
MULABE VIDIYO, OKUKOZESA JW.ORG, OLUVANNYUMA OBUUZE ABAWULIRIZA WA WE BAYINZA OKUGENDA NGA BAAGALA OKUYAMBA:
-
omuntu atakkiririza mu Katonda
-
omuntu afunye ekizibu eky’amaanyi
-
ow’oluganda oba mwannyinaffe eyaggwaamu amaanyi
-
omuntu akubuuzizza we tujja ssente ze tukozesa mu mulimu gwaffe
-
omuntu ava mu nsi endala ng’ayagala okumanya w’ayinza okukuŋŋaanira mu kitundu ky’ewaabwe