Agusito 27–Ssebutemba 2
LUKKA 23-24
Oluyimba 130 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Beera Mwetegefu Okusonyiwa Abalala”: (Ddak. 10)
Luk 23:34—Yesu yasonyiwa abasirikale Abaruumi abaamukomerera ku muti (cl lup. 297 ¶16)
Luk 23:43—Yesu yasonyiwa omumenyi w’amateeka (g-E 2/08 lup. 11 ¶5-6)
Luk 24:34—Yesu yasonyiwa Peetero (cl lup. 297-298 ¶17-18)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Luk 23:31—Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ebigambo ebiri mu lunyiriri luno? (“ng’omuti mubisi, . . . nga gukaze” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 23:31, nwtsty)
Luk 23:33—Biki ebyazuulibwa ebikakasa nti emisumaali gyakozesebwanga okukomerera omuntu ku muti? (“Omusumaali mu Ggumba ly’Ekisinziiro” ekifaananyi ekikwata ku biri mu Luk 23:33, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Luk 23:1-16
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli, okusinziira ku busobozi bwe.
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ekyawandiikibwa kye weerondedde, oluvannyuma omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) fg essomo 4 ¶3-4
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Ne Muganda Wo Yesu Yamufiirira”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Weeyongere Okulungiwa!
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 35 ¶1-11
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 82 n’Okusaba