Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ne Muganda Wo Yesu Yamufiirira

Ne Muganda Wo Yesu Yamufiirira

Yesu yawaayo obulamu bwe ku lw’aboonoonyi. (Bar 5:8) Tusiima nnyo okwagala Yesu kwe yatulaga n’awaayo obulamu bwe ku lwaffe. Kyokka oluusi tuyinza okwerabira nti ne baganda baffe Yesu yabafiirira. Baganda baffe ne bannyinaffe abatatuukiridde nga ffe, tuyinza tutya okubalaga okwagala nga Yesu kwe yatulaga? Ka tulabeyo engeri ssatu. Esooka, baganda baffe abaakulira mu mbeera ez’enjawulo ku zaffe, nabo tusaanidde okubafuula mikwano gyaffe. (Bar 15:7; 2Ko 6:12, 13) Ey’okubiri, tusaanidde okwewala okwogera oba okukola ebintu ebiyinza okwesittaza abalala. (Bar 14:13-15) Ey’okusatu, omuntu bw’atukola ekibi, tusaanidde okuba abeetegefu okumusonyiwa. (Luk 17:3, 4; 23:34) Bwe tufuba okukoppa Yesu, Yakuwa ajja kutuwa emikisa ekibiina kyeyongere okuba obumu, era kibeemu emirembe.

MULABE VIDIYO, WEEYONGERE OKULUNGIWA! OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Miki bwe yasengukira mu kibiina ekipya, yawulira atya mu kusooka?

  • Kiki ekyamuleetera okulowooza nti tebakyamufaako?

  • Ekyokulabirako kya Yesu kyayamba kitya Miki okukyusa endowooza ye? (Mak 14:38)

  • Ebiri mu Engero 19:11 biyinza bitya okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bakkiriza bannaffe?