Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Agusito 6-12

LUKKA 17-18

Agusito 6-12
  • Oluyimba 18 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Kirage nti Osiima”: (Ddak. 10)

    • Luk 17:11-14—Yesu yawonya abagenge kkumi (“abasajja abagenge kkumi” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 17:12, nwtsty; “mweyanjule eri bakabona” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 17:14, nwtsty)

    • Luk 17:15, 16—Omu yekka ye yakomawo okumwebaza

    • Luk 17:17, 18—Bye tusoma ku bagenge abo biraga nti kikulu nnyo okusiima (w08 10/1 lup. 14-15 ¶8-9)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Luk 17:7-10—Kiki kye tuyiga mu kyokulabirako Yesu kye yawa mu nnyiriri zino? (“abatalina mugaso” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 17:10, nwtsty)

    • Luk 18:8—Kukkiriza kwa ngeri ki Yesu kw’ayogerako mu lunyiriri luno? (“okukkiriza okw’engeri eno” awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 18:8, nwtsty)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Luk 18:24-43

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.

  • Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.

  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) fg essomo 4 ¶1-2

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO