OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Mujjukire Mukazi wa Lutti
Bayibuli tetubuulira nsonga lwaki mukazi wa Lutti yatunula emabega bwe baali badduka okuva mu Sodomu. (Lub 19:17, 26) Okusinziira ku bigambo Yesu bye yayogera nga tannaba kuwa kulabula okwo, kirabika mukazi wa Lutti yeegomba ebintu bye yali alese emabega. (Luk 17:31, 32) Kiki ekiyinza okutuyamba obutafiirwa nkolagana yaffe ne Yakuwa nga mukazi wa Lutti? Tetusaanidde kwemalira ku kunoonya bintu. (Mat 6:33) Yesu yagamba nti ‘tetusobola kuba baddu ba Katonda na ba byabugagga.’ (Mat 6:24) Naye twandikoze ki singa tukizuula nti tumalira obudde bungi ku kunoonya eby’obugagga mu kifo ky’okufaayo ku by’omwoyo? Tusobola okusaba Yakuwa atuyambe okulaba enkyukakyuka ze tusaanidde okukola, era atuwe obuvumu n’amaanyi tusobole okuzikola.
MUDDEEMU EBIBUUZO BINO EBIKWATA KU VIDIYO, MUJJUKIRE MUKAZI WA LUTTI:
-
Gloria bwe yapikirizibwa okunoonya omulimu ogusasula ssente ennyingi, kyakyusa kitya endowooza ye, enjogera ye, n’enneeyisa ye?
-
Biki bye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku mukazi wa Lutti?
-
Okukolera ku misingi gya Bayibuli kyayamba kitya John n’ab’omu maka ge?
-
Abantu Anna be yakolanga nabo baamuleetera batya okuddirira mu by’omwoyo?
-
Lwaki kitwetaagisa obuvumu bwe wabaawo abatupikiriza okukulembeza eby’obugagga?
-
Kiki ekyayamba Brian ne Gloria okuddamu okukulembeza eby’omwoyo?
-
Misingi ki egya Bayibuli egiragibwa mu vidiyo eyo?