Ab’oluganda nga bakola ku Beseri e Wallkill, mu New York

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Agusito 2019

Bye Tuyinza Okwogerako

Bye tuyinza okwogerako ebyesigamiziddwamu ku bisuubizo bya Katonda ebikwata ku biseera eby’omu maaso.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Katonda Teyatuwa Mwoyo gwa Butiitiizi”

Tusobola okwoleka obuvumu nga twolekaganye n’ebizibu singa twesiga Yakuwa.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abaagala Yakuwa b’Oba Ofuula Mikwano Gyo

Abo be tumala nabo obudde obungi basobola okutuyamba okukola ebintu ebirungi oba bayinza okutuleetera okukola ebintu ebibi.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Londa Abakadde”

Abo abatwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo balondebwa nga bagoberera enkola eri mu Byawandiikibwa.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abavubuka—‘Munyiikirire Ebikolwa Ebirungi’

Abavubuka bayinza batya okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe eky’okuweereza nga bapayoniya abawagizi oba bapayoniya aba bulijjo?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Yagala Obutuukirivu era Kyawa Obujeemu

Tuyinza tutya okukiraga nti twagala obutuukirivu era nti tukyawa obujeemu?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Fuba Nnyo Okuyingira mu Kiwummulo kya Katonda

Tuyinza tutya okuyingira mu kiwummulo kya Katonda, era kiki kye tulina okukola okusobola okukisigalamu?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Emirimu Emirungi Egitayinza Kwerabirwa

Bisaanyizo ki by’olina okutuukiriza okusobola okuweereza Yakuwa ku Beseri?