Oluyimba 99 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Londa Abakadde”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya Tito.]
Tit 1:5-9—Abalabirizi b’ebitundu balonda ab’oluganda abatuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa okuba abakadde (w14 11/15 lup. 28-29)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya Firemooni.]
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Tit 1:12—Lwaki ebiri mu lunyiriri luno tebiraga nti tusaanidde okusosola mu mawanga? (w89-E 5/15 lup. 31 ¶5)
Fir 15, 16—Lwaki Pawulo teyasaba Firemooni kuta Onesimo kuva mu buddu? (w08 10/15 lup. 31 ¶5)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Tit 3:1-15 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 3)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 12)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma omuwe kaadi ya jw.org. (th essomo 11)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Abavubuka—‘Munyiikirire Ebikolwa Ebirungi’”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Abavubuka Abaweesa Yakuwa Ekitiibwa.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 79
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 127 n’Okusaba