Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abavubuka—‘Munyiikirire Ebikolwa Ebirungi’

Abavubuka—‘Munyiikirire Ebikolwa Ebirungi’

Mu bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Tito, yalaga nti abavubuka nga mw’otwalidde ne Tito balina okufuba okussaawo “ekyokulabirako ekirungi mu kukola ebikolwa ebirungi mu buli kintu.” (Tit 2:6, 7) Ate era yalaga nti abantu ba Yakuwa balongoosebwa basobole okubeera abantu “abanyiikirira ebikolwa ebirungi.” (Tit 2:14) Ekimu ku bikolwa ebyo ebirungi kwe kubuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Bw’oba oli muvubuka, osobola okuweereza nga payoniya omuwagizi oba nga payoniya owa bulijjo?​—Nge 20:29.

Bw’oba oyagala kuweereza nga payoniya, kola enteekateeka ezinaakusobozesa okutuuka ku kiruubirirwa kyo. (Luk 14:28-30) Ng’ekyokulabirako, onoosobola otya okweyimirizaawo? Onoosobola otya okutuukiriza essaawa bapayoniya ze balina okuwaayo? Saba Yakuwa akuyambe. (Zb 37:5) Buulirako bazadde bo oba abo abaweereza nga payoniya ku nteekateeka z’olina. Oluvannyuma fuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ajja kukuwa emikisa ng’ofuba okumuweereza!

MULABE VIDIYO, ABAVUBUKA ABAWEESA YAKUWA EKITIIBWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kusoomooza ki ab’oluganda abamu kwe baalina okuvvuunuka okusobola okuweereza nga bapayoniya, era baakuvvuunuka batya?

  • Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okusobola okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo?

  • Lwaki kikulu okuba n’enteekateeka ey’okubuulira?

  • Ab’oluganda mu kibiina bayinza batya okuyamba payoniya n’okumuzzaamu amaanyi?

  • Mikisa ki abo abaweereza nga bapayoniya gye bafuna?

Nnyinza ntya okutuuka ku kiruubirirwa eky’okuweereza nga payoniya?