OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Emirimu Emirungi Egitayinza Kwerabirwa
Abaweereza ba Yakuwa bonna basobola okubaako ebintu ebirungi bye bakola mu buweereza obutukuvu ebitasoboka kwerabirwa. Okufaananako omuzadde ayagala abaana be era atayinza kwerabira bintu birungi bye baba bakoze, Yakuwa tayinza kwerabira mulimu gwaffe n’okwagala kwe tulaga erinnya lye. (Mat 6:20; Beb 6:10) Kyo kituufu nti obusobozi bwaffe n’embeera zaffe byawukana. Naye bwe tufuba okukola kyonna kye tusobola okuweereza Yakuwa, tufuna essanyu. (Bag 6:4; Bak 3:23) Okumala emyaka mingi, baganda baffe ne bannyinaffe bangi baweerezza ku Beseri. Oli mwetegefu okwewaayo okuweereza ku Beseri? Bw’oba nga tosobola, osobola okukubiriza ow’oluganda omulala okuweereza ku Beseri oba okuyamba ow’oluganda aweereza ku Beseri okusigala mu buweereza obwo?
MULABE VIDIYO, EBISAANYIZO BY’OLINA OKUTUUKIRIZA OKUSOBOLA OKUWEEREZA KU BESERI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Kiki ekisaanidde okukukubiriza okuweereza ku Beseri?
-
Mikisa ki abamu gye bafunye olw’okuweereza ku Beseri?
-
Bisaanyizo ki by’olina okutuukiriza okusobola okuweereza ku Beseri?
-
Oyinza otya okusaba okuweereza ku Beseri?