OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Abaagala Yakuwa b’Oba Ofuula Mikwano Gyo
Lwaki abo abaagala Yakuwa be tusaanidde okufuula mikwano gyaffe? Kubanga abantu be tumala nabo obudde obungi basobola okutuyamba okukola ebintu ebirungi oba bayinza okutuleetera okukola ebintu ebibi. (Nge 13:20) Ng’ekyokulabirako, Kabaka Yekowaasi yakola “ebirungi mu maaso ga Yakuwa” ekiseera kyonna Yekoyaada Kabona Asinga Obukulu kye yamala nga mulamu. (2By 24:2) Yekoyaada bwe yafa, Yekowaasi yava ku Yakuwa olw’okuba yali afunye emikwano emibi.—2By 24:17-19.
Mu kyasa ekyasooka E.E., omutume Pawulo yageraageranya ekibiina Ekikristaayo ku “nnyumba ennene” ate abo abakirimu n’abageraageranya ku ‘bibya,’ oba ku bintu ebibeera mu nnyumba. Tusobola okubeera ‘ebintu ebikozesebwa mu mirimu egy’ekitiibwa’ bwe twewala okukolagana n’omuntu yenna akola ebintu ebitasanyusa Yakuwa, k’abe wa luganda mu kibiina oba omu ku b’eŋŋanda zaffe. (2Ti 2:20, 21) N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okufuula abo abaagala Yakuwa mikwano gyaffe era abatukubiriza okweyongera okumuweereza.
MULABE VIDIYO, YIGA OKWEWALA EMIKWANO EMIBI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Tuyinza tutya okwesanga nga tukolagana n’abantu ababi?
-
Mu vidiyo gye tulabye, kiki ekyayamba Abakristaayo abo abasatu okwekutula ku mikwano emibi?
-
Misingi ki egya Bayibuli egisobola okukuyamba okukozesa amagezi ng’olonda emikwano?