Olukuŋŋaana olunene olw’ensi eziwerako olwa 2014, olwali mu New Jersey, Amerika.

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Apuli 2016

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Bye tuyinza okwogera nga tugaba magazini ya Zuukuka! n’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Kozesa ebyokulabirako ebyo osobole okutegeka ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Zzaamu Abalala Amaanyi era Obagumye ng’Okozesa Ebigambo eby’Ekisa

Mu kifo ky’okumubudaabuda, mikwano gya Yobu abasatu baayongera okumunakuwaza nga boogera ebitali bituufu. (Yobu 16-20)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ekitundu Ekipya Ekinaatuyamba mu Buweereza

Tandika okunyumya n’abantu ku ebyo ebiri mu Bayibuli ng’okozesa ekitundu “Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?”

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Yobu Yeesamba Endowooza Enkyamu

Geraageranya obulimba bwa Sitaani n’engeri Yakuwa gy’atutwalamu. (Yobu 21-27)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Yobu Yassaawo Ekyokulabirako Ekirungi mu Kukuuma Obugolokofu

Yobu yali mumalirivu okunywerera ku mitindo gya Yakuwa Katonda egy’empisa n’okukoppa obwenkanya bwe. (Yobu 28-32)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Mukwano Gwo Owa Nnamaddala Akuwabula

Koppa engeri Eriku gye yayogeramu ne mukwano gwe Yobu. (Yobu 33-37)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Lukuŋŋaana Olunene

Eby’okulowoozaako nga tugaba akapapula akayita abantu ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa. Wegezeemu mu nnyanjula.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene

Lowooza ku ngeri gy’oyinza okulagamu abalala okwagala ng’oli ku lukuŋŋaana olunene.