Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

ZUUKUKA!

By’oyinza okwogera: Nkukyaliddeko okukuwa akatabo kano.

Ekibuuzo: Weetegereze ekibuuzo ekiri ku lupapula 2. Ekibuuzo ekyo wandikizzeemu otya?

Ekyawandiikibwa: Luk 7:35

Akatabo kano kalaga engeri ekyawandiikibwa ekyo gye kikwataganyizibwamu ne Bayibuli.

ZUUKUKA!

Ekibuuzo: Olowooza kyandibadde kya magezi okukolera ku bigambo bino?

Ekyawandiikibwa: Mat 6:34

By’oyinza okwogera: [Bikkula awali ekitundu “Bayibuli ky’Egamba—Okweraliikirira.”] Ekitundu kino kiraga engeri Bayibuli gy’eyinza okutuyamba okwaŋŋanga ebitweraliikiriza.

Baibuli Ky’Eyigiriza

Ekibuuzo: Abantu bangi abakkiririza mu Katonda bandyagadde okuba mikwano gye. Obadde okimanyi nti Bayibuli etukubiriza okusemberera Katonda?

Ekyawandiikibwa: Yak 4:8a

By’oyinza okwogera: Akatabo kano kaategekebwa okutuyamba okuyiga ebisingawo ebikwata ku Katonda nga tukozesa Bayibuli. [Mulage essuula 1 ey’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.]

TEGEKA ENNYANJULA YO

 

Kozesa ekyokulabirako waggulu okutegeka ennyanjula yo.