Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 21-27

Yobu Yeesamba Endowooza Enkyamu

Yobu Yeesamba Endowooza Enkyamu

Leero Sitaani akozesa obulimba okumalamu abaweereza ba Yakuwa amaanyi. Weetegereze enjawulo eriwo wakati w’obulimba bwa Sitaani n’engeri Yakuwa gy’atutwalamu, nga bwe biragibwa mu kitabo kya Yobu. Wandiika ennyiriri za Bayibuli endala ezikukakasa nti Yakuwa akufaako.

OBULIMBA BWA SITAANI

ENGERI YAKUWA GY’ATUTWALAMU

Katonda asuubira bingi nnyo mu baweereza be ne kiba nti tewali kye basobola kukola okumusanyusa. Teri kitonde kisobola kusanyusa Katonda (Yobu 4:18; 25:5)

Yakuwa asiima kyonna kye tufuba okukola (Yobu 36:5)

Omuntu si wa mugaso eri Katonda (Yobu 22:2)

Yakuwa asiima obuweereza bwaffe era atuwa emikisa (Yobu 33:26; 36:11)

Omuntu okubeera omutuukirivu si kikulu eri Katonda (Yobu 22:3)

Yakuwa amaaso ge tagaggya ku batuukirivu (Yobu 36:7)