Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Lukuŋŋaana Olunene

Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Lukuŋŋaana Olunene

Buli mwaka, twesunga nnyo ekijjulo eky’eby’omwoyo kye tufuna ku lukuŋŋaana lwaffe olunene olw’ennaku essatu. Tujja kuyita abantu abalala bangi nga bwe kisoboka, nabo basobole okulega ku bulungi bwa Yakuwa. (Zb 34:8) Akakiiko k’abakadde mu buli kibiina kajja kusalawo engeri obupapula obwo gye bunaagabibwamu.

EBY’OKULOWOOZAAKO

  • Olukuŋŋaana lunaabaawo ddi?

  • Kaweefube ow’okuyita abantu anaatandika ddi mu kitundu kyaffe?

  • Enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira zinaabeerangawo ddi?

  • Biruubirirwa ki bye njagala okutuukako mu kaweefube ono?

  • Baani be nteekateeka okuyita?

BY’OYINZA OKWOGERA

Oluvannyuma lw’okubuuza omuntu, oyinza okugamba nti:

“Tuli mu kaweefube akolebwa mu nsi yonna ow’okugaba akapapula akayita abantu ku lukuŋŋaana olukulu ennyo. Ennaku z’omwezi, ebiseera, n’ekifo olukuŋŋaana olwo we lunaabeera biragiddwa ku kapapula kano. Oyanirizibwa.”

OMUNTU BW’ABA AYAGALA OKUMANYA EBISINGAWO

Wadde nga twagala okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka, tusaanidde okufaayo ku abo abaagala okumanya ebisingawo.

Ku wiikendi, bw’omala okuwa omuntu akapapula oyinza n’okumuweerako magazini.