Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene

Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene

Ku lukuŋŋaana olunene, twagala okweyisa mu ngeri eraga nti twagala Katonda ne baliraanwa baffe nga bwe tukola mu biseera ebirala. (Mat 22:37-39) 1 Abakkolinso 13:4-8 wannyonnyola nti: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. . . . Tekweyisa mu ngeri etesaana, tekwenoonyeza byakwo, tekunyiiga. . . . Okwagala tekulemererwa.” Ng’olaba vidiyo Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene, lowooza ku ngeri gy’oyinza okulagamu abalala okwagala ng’oli ku lukuŋŋaana olunene.

TUYINZA TUTYA OKWOLEKA OKWAGALA . . .

  • nga tukwata ebifo eby’okutuulamu?

  • ng’obuyimba bunaatera okutandika?

  • nga tuli gye tusula mu kitundu awali olukuŋŋaana?

  • nga tusabiddwa okukola nga bannakyewa?