Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 33-37

Mukwano Gwo Owa Nnamaddala Akuwabula

Mukwano Gwo Owa Nnamaddala Akuwabula

Eriku bwe yatandika okwogera, ebigambo bye byali bya njawulo nnyo ku bya Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali, era n’engeri gye yawabulamu Yobu yali ya njawulo nnyo. Yakiraga nti yali mukwano gwa Yobu owa nnamaddala, era omuwabuzi omulungi gwe tusaanidde okukoppa.

ENGERI OMUWABUZI OMULUNGI Z’ABA NAZO

ERIKU YASSAAWO EKYOKULABIRAKO EKIRUNGI

32:4-7, 11, 12; 33:1

 

  • MUGUMIIKIRIZA

  • AWULIRIZA BULUNGI

  • AWA ABALALA EKITIIBWA

 
  • Eriku yalinda abaali bamusinga obukulu ne bamala okwogera naye n’alyoka ayogera

  • Bwe yawuliriza obulungi, kyamusobozesa okutegeera obulungi ensonga nga tannabaako ky’ayogera

  • Yakozesa erinnya lya Yobu era yayogera naye nga mukwano gwe

 

33:6, 7, 32

 

  • MWETOOWAZE

  • ATUUKIRIKIKA

  • YESSA MU BIGERE BY’ABALALA

 
  • Eriku yali mwetoowaze era nga wa kisa; yali akimanyi nti naye tatuukiridde

  • Yessa mu bigere bya Yobu

 

33:24, 25; 35:2, 5

 

  • TAGWA LUBEGE

  • WA KISA

  • ATYA KATONDA

 
  • Mu ngeri ey’ekisa, Eriku yalaga Yobu nti endowooza gye yali afunye yali nkyamu

  • Eriku yayamba Yobu okukitegeera nti obutuukirivu bwe si kye kyali kisinga obukulu

  • Okuwabula Eriku kwe yawa Yobu kwateekateeka Yobu n’akkiriza okuwabula Yakuwa kennyini kwe yamuwa oluvannyuma