Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Apuli 4-10

YOBU 16-20

Apuli 4-10
  • Oluyimba 79 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Zzaamu Abalala Amaanyi era Obagumye ng’Okozesa Ebigambo eby’Ekisa”: (Ddak. 10)

    • Yobu 16:4, 5—Oyo abuulirira abalala alina okukozesa ebigambo ebizzaamu amaanyi (w90-E 3/15 27 ¶1-2)

    • Yobu 19:2—Ebigambo bya Birudaadi ebitaali bya kisa byayongera okwennyamiza Yobu (w06 4/1 31 ¶6; w94-E 10/1 32)

    • Yobu 19:25—Essuubi ery’okuzuukira lyagumya Yobu bwe yali mu bulumi obw’amaanyi (w06 4/1 31 ¶5; it-2-E 735 ¶2-3)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Yobu 18:6—Kiki Birudaadi ky’ayinza okuba nga yali ategeeza bwe yayogera ebigambo ebiri mu lunyiriri luno? (it-2-E 196 ¶4)

    • Yobu 19:26—Yobu ‘yandirabye’ atya Katonda ng’ate tewali muntu asobola kulaba Katonda? (w94-E 11/15 19 ¶17)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?

    • Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?

  • Okusoma Bayibuli: Yobu 19:1-23 (Ddak. 4 oba obutawera)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musseeko buli vidiyo eraga ennyanjula gye tuyinza okukozesa era mu gikubaganyeeko ebirowoozo. Kubiriza ababuulizi okutegeka ennyanjula zaabwe.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO